Minisita Ssebuggwawo akubye engalabi n’acamula abali e Dubai

Eddie Ssejjoba
Journalist @Bukedde
Apr 02, 2022

MINISITA Joyce Ssebuggwawo atadde ebbugumu mu mwoleso gwa Dubai Expo 2020 ng’akulembeddemu abakungu abalala okukiikirira Uganda.
Ssebuggwawo yacamudde abali mu mwoleso bwe yakubye engalabi olwo Bannayuganda abali mu Dubaine Middle East okutwaliza awamu ne batyabula amazina Amaganda ekintu ekyasanyudde abali mu mwoleso era bangi ne basaba okwekubisa ebifaananyi ebiraga Equator eyita mu Uganda.

Munnayuganda ng’annyonnyola Abazungu abazze mu mwoleso ku nkoo ira.

Munnayuganda ng’annyonnyola Abazungu abazze mu mwoleso ku nkoo ira.


Ono yagenze ne minisita omubeezi owa tekinologiya ow’ekikug Godfrey Kabyanga Baluku wamu n’omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule eyo, Aminah Zawedde.
Baayongedde ebbugumu mu mwoleso nga balambula emidaala gya Uganda egy’abayiiya bataano abaakiikiridde Uganda mu mwoleso guno ogumaze wiiki nnamba.
Kabyanga yategeezezza nti basanyufu okubeera nga waliwo Bannayuganda abayiiya abavuganyizza okuyita mu mitendera gyonna ne bakiikirira Uganda okwolesa ebyo bye bakola mu tekinologiya ow’ekikugu.

Munnayuganda ng’annyonnyola Abazungu abazze mu mwoleso ku nkoo ira.

Munnayuganda ng’annyonnyola Abazungu abazze mu mwoleso ku nkoo ira.


Omwoleso gwetabiddwaamu amawanga 190 nga buli limu lirina okwolesa bye bakola mu tekinologiya ow’ekikugu (ICT).
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});