UMX-C ENDURO CHAMPIONSHIP
EMPAKA za ddigi za Enduro zigoyezza abavuzi 14 ku 36 abeetabyemu ne bawanduka olw’ebitoomi, ensozi n’olugendo oluwanvu okwetoloola ekibira ky’e Kasanje ebibawadde akaseera akazibu.
Gift Malcon Tabula amanyiddwa nga Gift Ssebuguzi ne Miguel Katende be beetisse olunaku lw’empaka zino bwe bakung’aanyizza obubonero obwasinze obw’abalala n’okukozesa obudde obutono ddala.
Gift ye yawangudde omutendera gwa (Junior 2) era ye yasinze mu bavuzi bonna 36 omugatte abeetabyemu (Overall). Miguel Katende yeefuze omutendera gwa (Junior 1) bwe yakung’aanyizza obubonero 20 yekka.
Mu z’awamu (Overall), Ssebuguzi yaddiriddwa Christian Milletti eyafunye obubonero 17, Fatuh Kiggundu (15) mu kyokusatu, Yasin Ssemakula (15) n’abalala.
Omutendera gw’abato (Junior 1), Miguel yaddiriddwa Larry Ssekamwa n’obubonero 17, Jonathan Katende (15), Heiden Kaliisa (13), Harry Kimera (11), Jerome Mubiru (10) n’abalala.
Baabadde mu kibira ekiri okumpi n’ekisaawe kya ddigi eky’e Kasanje, abakulu gye batolontose kiromitta 6 okumala essaawa ssatu ez’omujjirano ate omutendera gw’abato baavuze kiromitta 2.5.
Zino zibadde mpaka za laawundi yaakubiri ku kalenda y’Enduro era nga wezijjidde ng’abavuzi beetegekera okuddamu okweriisa nfuufu mu za laawundi ey’okuna (4) ku kalenda y’eggwanga enkulu ey’eza Mountain Dew Motocross Championship egenda okuvugibwa nga May 28, 2023 e Fort portal.