I.coast (5)0-0(4) Algeria
Ekyokusatu
Uganda 3-1 Sudan
Emisinde
1500m Finals, Bawala
1. Baskaline Cherotwo (UGA) 4.26.93
2. Dahmani Fatma (ALG) 4.40.74
3. Risper Chekwemboi (UGA)
Musaayi muto Baskaline Cherotwo yawangulidde Uganda omudaali gwa zaabu ogwasookedde ddala mu mbiro eza mmita 1500 mu mizaanyo gyamassomero egyakomekkerezeddwa akawumgeezi keggulo mu kibuga Annaba, Algeria.
Cherotwo yakulembedde banne okuva ku lawunda eyasoose okutuuka okumalako nga yaddukidde edakiika 4:26.93. Yaddiriddwa munnansi wa Algeria Dahmani Fatma eyaddukidde 4:40.74 ate munnayuganda omulala Risper Chekwemboi nakwata kyakusatu natwala omudaali ogwekikomo.
Mu mupiira tiimu ya Buddo yakubye Sudan goolo 3-1 mu gwokulwanira ekyokusatu nenyuka nomudaali ogwekikomo.
Owen Mukisa yeyasoose okuteebera Buddo mu dakiika eya 20 nga yabadde ya peneti oluvanyuma lwokuzanyisa ettima ku muwuwutanyi Babi Abdul Shakur.
Buddo yafunye goolo eyokubiri mu dakiika eya 32 nga eyita mi Gideon Jjemba ate Umar Bashir nabafumira emamaze eggobe mu kibya mu dakiika eya 36 neguwummula 3-0. Mu kitundu ekyokubiri nga kyakatandika Sudan yateebyeyo goolo emu wabula teyagiyambye kujja buwanguzi ku Buddo.
Abazannyi ba Uganda nga balaga emidaali
Ivory Coast yeyawangudde omudaali ogwa zaabu oluvannyuma lwokukuba abategesi aba Algeria goolo 5-4 mu kakodyo kokusimulagana peneti oluvannyuma lwedaakiika ekyenda okuggwako nga tewali alengedde katimba ka munne.
Uganda empala yazifundikidde nemidaali etaano okuli ogwa zaabu gumu, ogwa feeza negyekikomo ebiri.
Commissioner webyenjigiriza mu ministry y'ebyemizannyo Rev. Can. Duncans Mugumya yatenderezza bamusaayimuto ba Uganda olwemidaali wabula nakiteeka ku nteekateeka ya gavumenti eyokuzuula ebitone nga eyita mu mpaka zamassomero eza USSSA.
Mugumya mugumu nti ebisaawe ebizimbiddwa mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo byakuyambako mu kuzuula ebitone ebyenjawulo okwetoloolaeggwanga lyonna. “ Gavumenti ya Algeria yazimba ebisaawe kumpi mu buli kabuga akalimu abantu abangi, naffe kyetwatandise bwolaba ebisaawe nga ekya Hoima, Aki Bua nawalala bijja kukozesebwa nnyo mu kuzuula ebitonw mu bitundu ebyo.
Emizannyo gyamassomero egyomwaka guno gikozeseddwa okugezesa bamusaayimuto abagenda okukiikirira Africa mu mizannyo gyabavubuka egya Olympics egigenda okubeerayo omwaka ogujja mu kibuga Darkar ekya Senegal.