ERINNYA Alexander Isak libadde liyimbwa nnyo ku kisaawe kya St James' Park (amaka ga Newcastle), wabula essaawa eno abawagizi babula kumulya bunyama olw'okwediima n'ekigendererwa eky'okukaka bakama be bamutunde mu
Liverpool.
Leero, Liverpool ekyalira Newcastle ekyagaanyi okubaguza Isak. Omutendesi Arne Slot yategeeza nga bwe beetaaga omuteebi ono. Ensiike eno, esanze Newcastle ekyalwana kuziba kituli kya Isak era mu gwaggulawo baakola maliri (0-0)
ne Aston Villa.
Liverpool, yawangula gwe bagguzaawo sizoni eno bwe yakuba Bournemouth (42) wabula eyagala kwesasuza Newcastle kuba sizoni ewedde yabalemesa ekikopo ekyokubiri bwe yabakuba (2-1) ku fayinolo ya Carabao Cup. Newcastle tekubye
Liverpool mu mipiira 17 egisembye mu Premier. Bagikubye 12 n'amaliri 5.