Gayaza ebinuka masejjere

May 08, 2025

OBUSUMBA bw'e Gayaza busambira mabega nga jjanzi oluvannyuma lw'okwetikkaekikopo ky'emizannyo eky'abaami abafumbo mu Busabadinkoni bw'e Gayaza.

NewVision Reporter
@NewVision

OBUSUMBA bw'e Gayaza busambira mabega nga jjanzi oluvannyuma lw'okwetikka
ekikopo ky'emizannyo eky'abaami abafumbo mu Busabadinkoni bw'e Gayaza.
Kino kiri mu nteekateeka y'ekibiina ky'abaami abafumbo (Fathers Union) mu Busumba
11, ey'okunoonya abanaakiikirira Obusabadinkoni ku mutendera gw'Obulabirizi.
Baavuganyizza mu mupiira ogw'ebigere, volleyball, Ludo, omweso, okudduka n'okusika
omuguwa ng'emizannyo gyayindidde Ku kisaawe ky'essomero lya Gayaza Kadongo.
Atwala ebyemizannyo mu Busabadinkoni, Charles Sennono, yeebazizza abaami abetabye
mu mizannyo gino n'abasaba obutaddiriza kutendekebwa okutuuka ku gy'Obulabirizi e
Ntebe nga May 17, 2025.
Mu mupiira, Gayaza yawangudde Kkungu mu peneti. Gayaza yaakawangula emizannyo gy'oku Bulabirizi emyaka ebiri egiddirihhana nga bw'ekyeddiza ku luno yaakukitwalira ddala

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});