KAPITEENI wa ManU, Bruno Fernandes ne ssita wa Newcastle, Alexander Isak baziriridde Mohamed Salah omukolo gw'okumutikkira engule y'omuzannyi wa Premier.
Salah baamutikkidde Lwakubiri ng'engule eno yagiwangudde omulundi gwakusatu oguddiring'ana n'ayingira mu byafaayo ng'asoose okukikola.
Isak
Salah (33), nga nzaalwa y'e Misiri, yabadde avuganya ne Mac Allister (Liverpool), Fernandes, Isak, Cole Palmer (Chelsea) ne Declan Rice owa Arsenal.
Omukutu gw'amawulire ogwa Al Jazeera, gwalaze nti embeera Isak gy'alimu ye yamulemesezza okwetaba ku mukolo guno.
Isak, yatabuse ne bakama be aba Newcastle bwe yakombye kw'erima nti ayagala kwabulira ttiimu yaabwe era n'agaana n'okutendekebwa n'agenda mu Real Sociedad eya Spain nga kati gy'abadde atendekerwa.
“Nsirise ebbanga ddene nga buli omu ayogera kyasanze. Kinnyambye okuwulira abantu kye balowooza kuba tebamanyi bigenda mu maaso", Isak bwe yategeezezza.
Amawulire ge gamu gaalaze nti Fernandes yagaanyi lwa nnugu bwe yategeddeeko nti tali mu ttiimu ya sizoni. Salah, ye yasinze okuteeba mu Premier sizoni ewedde ne ggoolo (29) n'akola ne asisiti (18). Omutindo guno gwe gwawamba Liverpool okuwangula Premier.
Oluvannyuma baalonze ttiimu ya Premier eya sizoni nga Arsenal yabaddemu n'abazannyi 3 okuli, William Saliba, Gabriel Magalhaes ne Declan Rice ate Liverpool (4) okuli; Sarah, Ryan Gravenberch, Virgil van Dijk ne Alexis Mac Allister sso nga Nottingham yabaddemu ne Chris Wood.
Milos Kerkez yali mu Bournemouth kati ali mu Liverpool. Mu ngeri y'emu, omuwuwuttanyi wa Aston Villa, Rogers Morgan (23) ye yalondeddwa ku ky'omuzannyi omuto.
Yateeba ggoolo za Premier 8 n'eza Champions League 4 sizoni ewedde nga mulimu ne 3 ze yakuba Celtic yekka.