Abazannyi b'ez'amagombolola batuuyanira ttiimu ya ssaza

Feb 20, 2024

ABAZANNYI 4375 ab’amagombolola 1075 mu Buganda batuuyana bwe zikala nga buli omu alwana okukakasa abatendesi okumuteeka ku ttiimu kabiriiti

NewVision Reporter
@NewVision

ABAZANNYI 4375 ab’amagombolola 1075 mu Buganda batuuyana bwe zikala nga buli omu alwana okukakasa abatendesi okumuteeka ku ttiimu kabiriiti eteekebwateekebwa okuzannya empaka z’amasaza eziggyibwako akawuuwo mu July.

Kati ziweze wiiki 4 ng’empaka z’amagombolola zizannyibwa ku bisaawe eby’enjawulo n’ekigendererwa ky’okuzuula ebitone ebito okukendeeza ku muwendo gw’abacuba abeetaba mu mpaka z’Amasaza eziwoomera buli omu.

Minisita Sserwanga ng'ayozaayoza aba Kawuga olw'okuwangula.

Minisita Sserwanga ng'ayozaayoza aba Kawuga olw'okuwangula.

Ku mipiira 25 egizannyiddwa wiiki eno, Kawuga mituba IV FC obuwanguzi bwa (1-0) yabuggye magombe oluvannyuma lwa Kawolo FC okugirumba ku kisaawe kyayo ekya Bishops e Mukono n’eginyigira ebitoliro okutuusa mu ddakiika y’e 90 Sadam Nyonga bwe yateebye n’aggya kawuga ku kaguwa.

Minisita w’ebyemizannyo, abavubuka n’ebitone mu bwakabaka bwa Buganda, Robert Sserwanga bwe yabadde aggulawo ez’amagombolola okuva mu Ssaza ly’e Kyaggwe, yasanyukidde ttiimu ezijjumbidde okwetabamu.

Yasabye buli muzannyi okukozesa omukisa guno okulaga ekitone kuba pulojekiti eno yajjiridde bavubuka bato abajjaa okukola ttiimu z’amasaza.

Hassan Ssentongo Owa Kawuga Ku Ddyo Ne Richard Sadi Owa Kawolo.

Hassan Ssentongo Owa Kawuga Ku Ddyo Ne Richard Sadi Owa Kawolo.

“Buli muzannyi eyeetaba mu z’amagombolola zino, abeera ayingidde mu bitabo by’essaza era tugenda kusigala tubalondoola, kino kijja kuyamba buli ssaza okubeera waakiri ne ttiimu kabiriiti bbiri ezigenda okuteekawo okuvuganya mu mpaka z’amasaza,” Sserwanga bwe yategeezezza.

Ez’amagombola zaakukomekkerezebwa nga April 6, ez’ebika bya Buganda ezitandika April 20, zikomekkerezebwa June 8, olwo twesogge amasaza mu July.

Ekibinja B kikulembeddwa eggombolola y’e Ngogwe n’obubonero 3, Kawuga (3) mu kyokubiri, Kawolo ne Kkoome tebalinaayo kabonero.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});