Kanso y'e Makindye etegese empaka z'ebyemizannyo okutabagana n'abatuuze
May 08, 2024
Kanso y'e Makindye etegese empaka z'ebyemizannyo okutabagana n'abatuuze

NewVision Reporter
@NewVision
EMPAKA z'emiruka gya Makindye ziyinda oluvannyuma lwa kanso okutandiikawo ebyemizannyo bino omulundi ogusookedde ddala n'ekiruubirirwa eky'okugatta abantu mu Makindye n'okumanya ebibaluma.
Sipiika w'eggombolola, Charles Luba Lwanga agamba empaka ezigenda okuggyibwako akawuuwo nga May 25, 2024 zifundikirwe nga October 09 zitegekeddwa n'ekigendererwa eky'okumanyisa abantu okuleeta ebiteeso mu kanso y'e Makindye ensonga zonna zisobole okukolebwako ku lw'abantu.
Muno mulimu okwongera okugatta abantu bonna mu miruka gino okwemanya n'okuwangula ebirabo omuli ente, embuzi n'emijoozi.
Lwanga ng'alaga ebimu ku bikopo ebitegekeddwa
Related Articles
No Comment