DC United esitukidde mu za 'Mutalaga Christmas Tournament Cup 2023'
Dec 26, 2023
EMPAKA za Mutalaga Christmas Tournament Cup 2023 zaagenze okukomerezza nga ttiimu ya DC United esitukidde mu kikoppo, ente, embuzi, omujoozi saako ne kavu wa bukadde 2 oluvannyuma lw'okuwuttula Kajjansi Wembley ggoolo 1 ku 0.

NewVision Reporter
@NewVision
EMPAKA za Mutalaga Christmas Tournament Cup 2023 zaagenze okukomerezza nga ttiimu ya DC United esitukidde mu kikoppo, ente, embuzi, omujoozi saako ne kavu wa bukadde 2 oluvannyuma lw'okuwuttula Kajjansi Wembley ggoolo 1 ku 0.
Empaka z'akamalirizzo zakwajjide ku kisaawe kya Lweza Peche Stadium mu Makindye Ssabagabo ku Ssekukkulu .nga zaggulwawo ennaku z'omwezi nga 10.July. 2023.
Fayinolo yatandise ku ssaawa 10 mu kitundu ekyasoose ttiimu ya DC United mwe yafunidde ggoolo eyagituusizza ku buwanguzi bw'omwaka guno n'esitukira mu kikopo n'ebirabo ebirala njolo.

Ttiimu ey'okubiri nayo yabusewo n'ente, omujoozi,n'emidaali ate ey'okusatu ey'okusatu n'ebuukawo n'emitwalo ataano n'embuzi.
Ttiimu endala 70 okuli; Makindye Ssabagabo FC,Kibalaza Fc,Feffefe Fc,Black wolves Fc, Cristal fc, Black Wornies Fc, Bwebajja Fc, Police fc, Aston villa fc, Ndejje United, South Africa, Jesus Fc, Hared Fc, St. Lawrance n'endala nnyingi ezeetaba mu mpaka zino, buli emu yaweereddwa emitwalo asatu (300,000/=) gattako satifikeeti.
Empaka zimaze emyaka musanvu nga zizannyibwa gattako okwetabwamu ttiimu ez'enjawulo wakati mu kusindana okwa kaasammeeme.

Omutegesi w'empaka zino Frank Mutalaga yagambye nti ekyamuteesaawo empaka zino kwe kusobola okuzuula ebitone by'abavubuka okwetoloola Uganda kubanga ttiimu ezizannya mu Tournament ye ziva ne mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo. Era nga kimuwa essanyu ttiimu za Uganda ennene bwe zijja ne zifuna abazannyi mu tournament ye era agamba abavubuka abamu bafuna ne sikaala ku yunivasite ez'amaanyi lwa bitone.
Ono yasuubizza entakera nti empaka zino kubaawo buli mwaka Katonda nga ye mubeezi ate nga amugabiridde.
Related Articles
No Comment