Mukono 2-2 Strong Spirits
Banda rhinos 0-1 Red Angels
Mukono 1-0 Buikwe
Red Angels 1- 1 USIU (Kenya)
Buikwe 0 - 0 Strong Spirits
USIU 0-0 Banda Rhinos
Semi Finals
Red Angels 2-1 Strong Spirits
Mukono (1)0 -0 (0)USIU (Kenya)
Final
Red Angels 2 - 0 Mukono
KIRAABU ya Red Angels okuva e Makerere yeetisse empaka z'omupiira gw'abamuzibe oluvannyuma lw'okukuba Mukono Ancilla goolo 2-0 ku luzannya olw'akamalirizo mu mupiira ogwanyumidde ku kisaawe kye Makerere.
Empaka z'omupiira gwa bamuzibe
Goolo za Angels zombi zaateebeddwa muyizzi tasubwa Joseph Etoju mu kitundu ekyokubiri. Etoju era yeyasinze okulengera akatimba mu mpaka nga yateebye goolo mukaaga mu mipiira ena.
Empaka z'omwaka guno zetabiddwamu tiimu mukaaga okwabadde n'abagenyi aba USIU okuva e Kenya nga bano baamalidde mu kifo kyakusatu nebatwala omudaali gw'ekikomo.
Guno gwegwabadde omulundi ogusooka Angels okutwala ekikopo kino nga enfunda bbiri ezisembyeyo babadde baviiramu ku luzannya oluddirira olwakamalirizo.
Bamuzibe nga battunka mu mupiira gw'ebigere
Omutandisi w'omupiira gwabamuzibe mu Uganda Muzafaru Jjagwe yatenderezza omutindo n'okuvuganya ebyayoleseddwa mu mpaka z'omwaka guno. "omupiira gwabamuzibe gwongedde okukula bwolabira ku muwendo gwa tiimu ogwetabyemu omwaka guno, singa twongera okuyambibwako nnadala mu bikozesebwa tukakasa mu bbanga ttono tujja kutuuka gyetwagala".
Empaka z'omwaka guno zaakozeseddwa okuzuula ebitone ebirala nga Uganda yeetegekera empaka z'omupiira gwabamuzibe eziri ku daala lyensi yonna ezigenda okubeera mu Uganda omwezi ogujja.
Uganda egenda kutegeka empaka zaayo ezisoose okuva weyeegatta ku kibiina kyomuzannyo gwomupiira ogwabamuzibe ekya IBSA mu October wa 2023.