Hajj Ahmed Mandela akoleredde nnyo
SC Villa ebbanga lyonna, omupiira, ate n'ebyemizannyo mu Uganda okutwaliza awamu.
Musajja mukozi nnyo, era tulina bingi eby'okumuyigirako olw'engeri gy'ayiiyaamu, okutambuza emirimu, ate n'olwenkolagana ye n'abantu.
Abamu tebakimanyi nti yaweerezaako nga Minisita Omubeezi owa Nkuluze mu gavumenti ya Kabaka.
Tukuyozaayoza era tukwagaliza buwanguzi.