Ebyemizannyo

Fadilah, Anyola ne Basangwa Batutte ebya Fortbet Real Stars

Abazannyi basatu be banywedde mu bannabwe akeendo mu mizannyo egitali gimu era ne beewangulira ebirabo bya Fortebet Real Stars Sports Awards ku kabaga akaategekeddwa e Kololo ku Lwokubiri nga March 3.   

Abakungu ba Real stars awaed nga bali n'abamu ku bantu absiimiddwa
By: Silvano Kibuuka, Journalists @New Vision

Abazannyi basatu be banywedde mu bannabwe akeendo mu mizannyo egitali gimu era ne beewangulira ebirabo bya Fortebet Real Stars Sports Awards ku kabaga akaategekeddwa e Kololo ku Lwokubiri nga March 3. 

Omuzannyi wa Badminton (ttena ey’ekyoya), Fadilah Shamika nga ye yawangudde omudaali gwa zaabu mu mpaka za Africa mu bakazi mu mpaka ezaabadde mu ggwanga lya Botswana n’omu ku baakwasiddwa engule wamu ne kavvu wa sh500,000/=.

Ono yamezze Tracy Naluwooza wamu ne Arafat Tendo Mukalazi bwe bavuganyizza ku ngule eno.

Omu ku bawangudde nga bakutte engule zaabwe

Omu ku bawangudde nga bakutte engule zaabwe

Ku mpaka za Africa, Fadilah yayongedde okulaga Bannayuganda nti alina essuubi okwongera okwatiikirira nga ye muzannyi wa Uganda yekka eyasobodde okutuuka ku luzannya lw’abazannyi 16 mu mpaka za Uganda International Challenge ezaategekeddwa mu Uganda nga zeetabiddwamu abazannyi okuva mu mawanga 39.

“Kinsanyusizza nnyo nate okuddamu okuwangula ekirabo kya Fortebet Real Stars Sports Award nga nnakoma kuziwangula mu 2024. Oluvannyuma lw’obuvune kati nkomyewo mu muzannyo,” Fadila bwe yategeezezza.

Ono y’omu ku batunuulidde okukiikirira Uganda mu mizannyo gya 2028 Los Angeles Olympics wamu ne World Championships.

Munne bwe baawangudde, Mark Nyola Wasswa muzannyi wa Chess.

Ono yawangudde empaka za Super 12 ezaabadde zisunsulako bataano abanaakiikirira Uganda mu mpaka z’ensi yonna ez’omuzannyo guno eza Chess Olympiad ezigenda okubeera mu ggwanga lya Uzbekistan mu September omwaka guno.

Ku kirabo kino, Nyola yavuganyizza ne Sana Omprakash wamu ne Olivia Asaba.

“Kyansanyuzizza okuwangula enzannya zonna ezeetabiddwamu abazannyi 12 era ne nkwata ennamba ku ttiimu y’eggwanga egenda mu World Olympiad. Empaka zaabadde nzibu wabula nga nasobodde okuwangula bonna abeetabyemu. Neebaza aba Fortebet Real Stars Sports Awards,” bwe yategeezezza.

Abamu ku bsiimiddwa nga bakutte engule zaabwe

Abamu ku bsiimiddwa nga bakutte engule zaabwe

Omusambi w’omupiira, Richard Basangwa ye w’okusatu eyawangudde.

Ono yalondeddwa olw’obukugu bwe yayolesezza n’ateebera kiraabu ye eya NEC FC ggoolo bbiri bwe baalumbye KCCA FC ku butaka bwayo ku kisaawe kya Phillip Omondi ne bagikubirayo ggoolo 3-1.

Mu mwezi gwe gumu, Basangwa yateebedde NEC FC ggoolo nga balemagana ne Viper SC eyamusalako sizoni ya 2024 nga nayo baagirumbye ku butaka e Kitende.

Mu kuvuganya yamezze, Milton Kalisa owa Vipers SC ne Rogers Omedwa omukwasi wa ggoolo ya UPPC FC esambira mu kibinja kya supa.

Ono yakiikiriddwa dayirekita wa Fortebet Real Stars Sports Awards, Isaac Mukasa eyasiimye abawanguzi n’abakubiriza okwongeramu amaanyi okutuuka ku birabo ebinene.

“Twasalawo okugabira abazannyi ebirabo nga twatandika mu November 2018. Kuno kubazzaamu maanyi basobole okukola ennyo okutuuka ku birabo ebinene ku mutedera gw’eggwanga, ogwa Africa n’ensi yonna,” Mukasa bwe yategeezezza.

Yeebazizza abavujjirizi, Reste Mbatidde owa Fortebet, Eron Namulindwa owa Jude Color Solutions ne Moya Hassan e Kololo awaakoleddwa akabaga b’abasiima okuwagira emizannyo.

Ebirabo bino biddamu okugabwa omwezi ogujja eri abawanguzi omwezi b’omwezi guno.