Ebyemizannyo

Ab'emmotoka z'empaka bagenze mu za Safari rally e Kenya

ABAVUZI b’emmotoka z’empaka bannayuganda 4 bagenze bawaga okufiira ku beeyita bakafulu mu muzannyo guno okuva mu mawanga amalala mu mpaka z’ensi yonna eza WRC Safari Rally ezitandika wiiki ejja mu kibuga Naivasha ekya Kenya.

Ab'emmotoka z'empaka bagenze mu za Safari rally e Kenya
By: Gerald Kikulwe, Journalists @New Vision

ABAVUZI b’emmotoka z’empaka bannayuganda 4 bagenze bawaga okufiira ku beeyita bakafulu mu muzannyo guno okuva mu mawanga amalala mu mpaka z’ensi yonna eza WRC Safari Rally ezitandika wiiki ejja mu kibuga Naivasha ekya Kenya.

Emmotoka

Emmotoka

Eggulo nga basiibulwa mu butongole ku offisi za NCS e Lugogo, Duncan Mubiru ‘Kikankane’ mu Subaru Impreza WRX STI, Oscar Ntambi mu Mitsubishi Evo 10, Timothy Gawaya mu Seat Ibiza baagumizza bannayuganda nti bakomawo n’obubonero obw’omuzinzi. Yasin Nasser mu Ford Fiesta R5 MK2 alina engule ya ARC omwaka oguwedde teyabaddewo mu kubasiibula wabula naye ayagala kumalira mu bifo ebisava okutangaaza emikisa egy’eddiza ARC.

Kikankane, Gawaya ne Ntambi bagenda kuvuganya ku mutendera ogwokubiri ku ngule ya Afrika (ARC2) ate Nasser ye yekka avuganya ku ngule ya Afrika eya bakafulu (ARC).

Emmotoka

Emmotoka

Omukolo gw’okubasiibula mu butongole gukoleddwa omumyuka wa ssaabawandiisi wa NCS omuggya Milton Chebet ku Copper Chimney e Lugogo ng’abavuzi bonna bagenze bawaga.

Empaka zino zitandika ku Lwakuna lwa wiiki ejja zikomekkerezebwe ku Ssande (March 12th–15th). Mmotoka zaakutolontoka kiromita 1,192.92 okuli zivuganyizibwako  350.02 n’endala 842.9 ezitavuganyizibwako.