Abaddusi abaliko obulemu abasobye mu 20 beetabye mu mpaka zokusunsula bannabyamizannyo abenjawulo ziyite National trials ezisookedde ddala omwaka guno. Empaka zino ezaategekeddwa ab’ekibiina ekiddukanya omuzanyo gwemisinde mu ggwanga ekya Athletics Uganda zaayindidde mu kisawe e Namboole ku lwomukaaga lwa wiiki ewedde.

Emizannyo gy'abaliko obulemu
Abazanyi 25 abaliko obulemu bebeetabye mu mizannyo mu mitendera egyenjawulo okuli ogwokubuuka guyite Long Jump, okukanyuga olunyago, Shotput, Discus emisinde egya mmita 1500, 400, ne mmita 100.
Abazanyi okuli Daniel Onega ne Fred Amaza Amanzuruku beetabye mu mizannyo ebiri okuli okubuuka nga bwogwa mu musenyu kiyite long jump nembiro ezaakafubutuko eza mmita 100. Bano beebamu ku bazanyi ababadde baakakakasibwa ekitongole kyensi yonna ekiddukanya emizanyo gyabaliko obumu ekya international paralympic committee mu mizannyo egyabadde mu kibuga Dubai ku nkomerero yomwaka oguwedde.
Bbo abazanyi okwabadde Prosy Namusisi, Hadija Buuza ne Brian Mugambe beetabye mu gwakukanyuga kazito guyite shot put nga nabo banoonya bubonero obubatwala muy mizannyo gya commonwealth omwaka guno ne Paralympics owa 2028.

Emizannyo gy'abaliko obulemu
Richard Ocira addukira mu kagaali yadduse yekka oluvannyuma lwokubulwawo abaddusi abalala baavuganya nabo wabula nga naye yabadde ayagala kwongera ku bubonero bwalina okusobola okufuna omukisa okukiikirira eggwanga mu mizannyo gyensi yonna.
Omutendesi wa tiimu yeggwanga Vincent Mutagubya yatenderezza omutindo ogwassiddwawo abavubuka naddala abapya ekyamulaze ebiseera bya Uganda ebyomumaaso mu mizannyo gyabaliko obulemu nti mitangaavu.
Irene Nabisenke akulira okukulakulanya ebitone mu kakiiko akaddukanya emizannyo gyabaliko obulemu mu ggwanga yategezezza nti ekirooto kyabwe kyakwongera kuwawula abamu ku bavubuka abagenda okukiikirira eggwanga mu mizannyo gyensi yonna omwaka guno nomwaka ogujja. “twetabye mu mpaka zino okutegeka nokulaba abavubuka baffe webatuuse mu mitendera egyenjawulo gyebagenda okwetabamu” Nabisenke bweyagambye.

Emizannyo gy'abaliko obulemu
Nga ogyeeko ekyokutegeka tiimu yeggwanga abamu ku beetabyemu baagala kusenkebwa ekibiina kyensi yonna saako nokusengeka emizannyo abaliko obulemu gyebalina okwetabamu kiyite classification.
Bino webigyidde nga Uganda yeetegekera mpaka zabaliko obulemu eza commonwealth ezigenda okubeera mu gwanga lya Scotland omwaka guno saako nempaka zensi yonna eza Paralympics ezigenda okubeera mu kibuga Los Angelles ekya Amerika mu 2028.