OSCAR Ntambi, omuvuzi w’emmotoka z’empaka atangaazizza emikisa gy’okufuuka Munnayuganda owookusatu okuwangula engule ya Africa Rally Championship ey’omutendera gwokubiri (ARC2) mu bbanga lya sizoni ttaano zokka.
Kino kiddiridde ku wiikendi okumalira mu kifo ekisooka mu mutendera guno mu mpaka z’ensi yonna eza WRC Safari Rally ezaamaze ennaku 4 nga ziyindira mu kibuga Naivasha mu Ssaza ly’e Nakuru e Kenya.
Engule eno yawangulwako Mike Mukula Junior mu 2024 ne Yasin Nasser mu 2021 ekyongedde bannayuganda bangi ennyonta okukiika mu mpaka za Afirika.
Ntambi mu mmotoka ye empya ekika kya Mitsubish Evolution 10 ng’ayambibwako Uthumaan Muhammadi, guno gwabadde mulundi gusooka okuvuganya mu mpaka za Africa. Olugendo olwa siteegi 19, baaluvugidde essaawa ttaano, eddakiika 11 n’obutikitiki 8 bwokka (5:11:08.0).
Ntambi okutuukiriza ekirooto kino, alina okumalako empaka endala ssatu ku kalenda ya Africa (Pearl of Africa Uganda Rally – May 7-10, Rwanda Mountain Gorilla – July 10-12, Mkwawa Rally of Tanzania – October 2-4).
Mu mpaka z’e Kenya, Uganda yakiikiriddwa abavuzi 4; Yasin Nasser ne Duncan Mubiru Kikankane mmotoka zaabafuddeko wakati mu lugendo. Nasser yakanise n’akomawo n’amalira mu kifo kya 28 ku bavuzi 40, Kikankane yawanduse ate Tomothy Gawaya yavuganyirizza ku mutendera gwa kalenda y’e Kenya era n’aguwangula.