EKIBIINA ekiddukanya emizannyo gy’amassomero ga siniya ekya USSSA kikakasizza ebisaawe ebyenajwulo ebigenda okuzanyirwamu emizannyo gyamassomero egya National Ball Games 1.
Olukiiko oluteesiteesi olwa district ye Mukono nga lukulembeddwa Steven Kitooke lulambuzza abakungu ba USSSA nga bakulembeddwa amyuka kamisona webyemizannyo mu ministry yebyemizannyo Sam Odong amassomero agawerako agasuubirwa okutegeka egimu ku mizannyo.
Basoose mu lukungaana olwawamu olwatude ku ssomero lya Seroma erigenda okutegeka empaka zomwaka guno. Mulukungaana luno abakulira ebyemizannyo mu district ye Mukono baalopedde kamisona agamu ku massomero agakyeeremye okussa mu nkola ekiragiro kya ministry yebyenjigirixza nebyemizannyo okwenyigira mu byemizannyo kiyite co curicular activities.
Wabula abamu ku bananyini massomero agobwananyini e Mukono kino baakitadde ku bbula lyebisaawe nebisale ebyetaagisa naddala mu kutambuza abayizi okubatwala gyebaba bagenda okuzanyira.
Oluvannyuma abakungu beesudde mu ddene okulambula ebisaawe ebyenjawulo era nga baatandikidde ku ssomero lya Namilyango College okwekeneenya ebisaawe bya Rugby ne Hockey wabula nga eno baasanze ekisaawe kya rugby tekiri mu mbeera nnungi olwenkuba ebadde efudemba enaku zino.
Oluvannyuma baalambude ebisaawe ku our lady of Africa, Hilton high school Mukono, Bishops SS namalala wabula nga university ya UCU yeyasinze okucamula abakungu bano olwebisaawe ebyomulembe ate nga biri mu kifo kyekimu.

Kamisona webyemizannyo Sam Odong nga ali wamu nabakulira amassomero mu district ye Mukono
Eno baasanzeeyo ebisaawe byomupiira bibiri, ebyokubaka bibiri, ebyensero bisatu nebya volleyball bibiri ekyawadde abategesi amaanyiokukyalizaayo emizannyo egiwerako.
Baasembye kulambula bisaawe byabategesi aba Seroma era nga eno baasanze omulimu gwokuzimba ebisaawe gutambula bukwakku ekyawadde abaakakiiko essuubi eryokutegeka empaka ezomutindo. Seroma erina ebisaawe byomupiira bibiri ebiri mu kuzimbibwa ate nga nebisulo abayizi webagenda okusula byasangiddwa mu mbeera nnungi ddala.
Amyuka kamisona webyemizanyo mu ministry yebyemizannyo yatenderezza omutindo gwebisawe ebyalambuddwa wabula naasaba akakiiko akategesi okudayo okuddamu okwekeneenya emirimu egikolebwa nga empaka tezinatandika. Odong yatenderezza nanyini ssomero lya seroma amelia kyambadde olwensimbi zaatadde mu kuzimba ebisaawe byebyemizannyo okuli ebyomupiira nekidiba owugirwa ebyomulembe.
Kyambadde yeebazizza aba USSSA olwokubawa omukisa okutegeka empaka zino omulundi ogwasookedde ddala mu byafaayo. Kyambadde yakakasizza nti empaka wezinatandikira buli kimu ekikolebwa kijja kuba kiwedde naddala ekisaawe awagenda okutegekerwa empaka eziggulao neziggalawo.
Emizannyo 11 gyegigenda okubaamu okuvuganya okuli omupiira ogwabawala, ensero, okubaka, volleyball, tennis, tennis wokumeeza, handball, rugby badminton ne hockey.
Amassomero agasoba mu 500 gegasuubirwa okwetaba mu mpaka zomwaka guno ezitandika nga 29 omwezi ogwokuna okutuusa nga Mwenda omwezi ogwokutaano.
Mukono yali yasemba okutegeka empaka zamassomero ezamaanyi mu 1998 wabula ku mulundi guno Seroma yateekayo okusaba era nebakkirizibwa okutegeka.