ESSANYU lyabuutikidde essomero lya Gayaza Junior School nga ttiimu y’eggwanga eby’omuzannyo gw’okubaka The She Cranes ekyaddeyo.
Lwabadde lunaku lw’ebyemizannyo olwa Sports Day 2026 ku Gayaza Junior School ng’abayizi baavuganyizza mu mizannyo egyenjawulo omwabadde n’omuzannyo gw’okubaka aba She Cranes gwe baatongozezza mu mu butongole ku ssomero lino nga baasuubizza n’obuwagizi obwenjawulo.
She Cranes, g’ekwata ekifo kya mukaaga mu nsi yonna mu muzannyo gw’okubaka yabadde ekulemebddwamu maneja waayo Alice Alweny, abatendesi Rashid Mubiru ne Ruth Meeme ssaako ne kapiteeni wa ttiimu Racheal Nanyonga n’abazannyi abalala.

ABA she Cranes nga bali mu muzannyo gw'okubaka ku ssomero lya Gayaza Junior
Abayizi, abazadde n’abagenyi abakulu baafunye ku mukisa okwerabira ku bukodyo obwenjawulo mu bazannyi ba She Cranes abaabadde beekozeemu ttiimu ebbiri nga n’abazadde abamu abaabadde bakulembeddwamu akulira essomero lya Gayaza Junior School, Sarah Tebugulwa Kizito baafunye omukisa okubeera mu kisaawe ky’ekimu n’abazannyi ba She Cranes.
Omukolo gw’okutongozza omuzannyo gw’okubaka ku ssomero lya Gayaza Junior School, gwetabiddwako ne bishop w’e Namirembe, Rt. Rev. Moses Banja ssaako akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Wakiso, Prim Rita Nanyanzi wamu n’akulira ebyemizannyo mu disitulikiti y’e Wakiso, Brian Charles Ssenyonga nga baabadde bakulembeddwamu akulira essomero lya Gayaza Junior School, Sarah Tebugulwa Kizito era ng’abayizi n’abasomesa baafunye n’omukisa okwekubyako ku bifaananyi ne bassita ba Uganda mu muzannyo gw’okubaka.

Gayaza Junior School ly’essomero eryasoose mu byafaayo okukyaza aba She Cranes ng’enteekateeka eno yawoomeddwamu omutwe aba Future Stars Sports Program abakola ku kuzuula wamu n’okutumbula ebitone mu bayizi ba n’ekigenderwa ky’okuzimba bassita abapya era nga Ruth Meeme amyuka omutendesi wa She Cranes wamu ne Racheal Nanyonga kapiteeni wa She Cranes, be batendeka omuzannyo gw’okubaka mu Future Stars Sports Program.
Gayaza Junior School geegamu ku masomero ga pulayimale agasinga okuweebwa ekitiibwa mu kubangula abayizi nga limaze emyaka 120 nga lyekuumidde ku mutindo
Lwo olunaku lw’ebyemizanyo lwagenze okukomekkerezebwa ng’ennyumba ya Angola yeddiza ekikopo ky’omwaka guno nga baawangulidde ku bubonero 1440, yaddiriddwa Zambia ku bubonero 1348, Algeria mu kyokusatu ku bubonero 1321 nga Ghana yamalidde mu kyakuna ku bubonero 1103