Kyaddaki emmotoka emanyiddwa ennyo okujojobya abavuzi b’emmotoka z’empaka mu nsi yonna emanyiddwa nnyo ng’akakere ekika kya Skoda Fabia RS N5 esabukuluddwa munna Uganda wakati mu bavuzi b’emmotoka z’empaka okugyesunga mu muzannyo guno.
Eno yesoose ku lukalu lwa Africa nga ereeteddwa munnayuganda Musa Ssegaabwe avugira mu Segamu rally team wamu ne munne Mathias Kiyegga.

Ekyuma ekipya
Mu gisabukulula yegattiddwako bavuzi banne omuli Ronald Ssebuguzi, Kalule, Didas Matsiko saako abasomi ba maapi n’abawagizi b’omuzannyo gwa mmotoka mu ggwanga.
Mu kwogera kwe Ssegaabwe atutegezezza nti obutawangula ngule ya sizoni ewedde songa yali afubye wabula emmotoka yamutimawa nga eno yemu ezamuwalirizza okutumya mmotoka esinga ku eri gy’abadde nayo ku maanyi.
Ssegaabwe atutegezezza nti emmotoka eno erimu tekinologiya mupya nnyo nga n’obuzito eno ewewuka nnyo bwogigeraageranya ne Evo 9 gy’abadde avuga nga eno agamba nti edduka okusinga ku gy’abadde nayo.

Musa Ssegaabwe ku kkono (Driver) Mathiau Kiyegga ku ddyo omusomiw a Maapu
Bw’abuuziddwa ku birooto bye mu muzannyo gwa mmotoka Ssegaabwe ategezezza nti ekirooto kye kuwangula ku engule ya ggwanga era nga kye kigendererwa kye omwaka guno.
Ate ku nsonga ya famire ye okubanga emuwagira okuvuga mmotoka ono ategezezza nti yali maama we yeyali asinga okutya nti wabula kati yaguma ddaa songa omukyala ye bali kimu