Nga esigadde emyaka ebiri okutuuka ku mpaka z'abaliko obulemu ez'ensi yonna eza paralympics 2028, akakiiko akaddukanya emizannyo gyabaliko obulemu mu Uganda aka National Paralympic Committee (NPC) kongedde amaanyi mu kaweefube wokunoonya bannabitone abaliko obulemu ne kigendererwa ekyokuggumiza tiimu yeggwanga.

Omutendesi Vincent Mutagubya nga annyonyola abazanyi mu kutendekebwa
Wabula ku mulundi guno aba NPC batunuulidde okunoonya ekika kyabantu abaliko obulemu abatatera kukiikirira Uganda. Bwebaabadde baggulawo kaweefube ono mu district ye masaka wiiki ewedde, abantu abasukka mu 40 beebetabye mu kugezesebwa okwabadde ku kisaawe kya Muteesa 1 royal university.
Okusinziira ku Irene Nabisenke omukungu avunaanyizibwa ku kulondoola bannabitone mu NPC entekateeka eno eriko ebika byabazanyi byebatunuulidde. Nabienke yategezezza nti kumulundi guno baagala kubantu abaliko obulemu ku bwongo bayite (intellectual impairment) nabantu abampi baagamba nti balina emikisa mingi okunogera Uganda emidaali mu mutendera gwensi yonna.

Omukanyuzi wakazito mu kugezesebwa kwabaliko obulemu
Ebbula lyabantu abekikula bwekiti Nabisenke alitadde ku butamanya busobozi bwabwe kyagambye nti kikuumiddnabitone bangi emabega. Bano, naddala abampi basinga kubasanga mu biduula nga bagenze kusanyusa bantu nga kati batunuulidde okubaagazisa emizannyo.
Akakiiko era kaakutwala kaweefube ono mu massomero abantu ku baana omuli abalina obulemu ku bwongo gyebasinga okubeera. Wabula agamba nti okuzuula abantu bano ssi kyangu olwabamu ku bantu ababavunaanyizibwako okubakweka, okubalekerera nokubulwa empoapula ezinyonyola obulemu bwabwe.
Nabisenke agamba nti abantu abalina obuleu ku bwongo bebantu abatwalibwa okubeera ne IQ eri wansi webitundu 70 ku buli kikumi wabula nga nokubazuula kikalubamu olwebbula lyabasawo abakugu mu ekyo.
Mukiseera kino Uganda erina omuddusi omu yekka Muzam Chebet adduka embiro eza mita 1500 agwa mu kiti kyabaliko obulemu obwobwongo.
Aba NPC bagumu nti singa Uganda efuna abazanyi abawerako ejja kuba esobolera ddala okuvuganya mu buli muzannyo gwabaliko obulemu mu mpaka ezenjawulo ezesni yonna.

Omuzanyi nga akanyuga akazito mu kutendekebwa
Okwawukanako nabantu abaliko obulemu obulala, abobwongo beetaba mu mizannyo gyalubatu okuli emisinde egya mmita 100m, 400m ne 1500m saako nokuwuga.
Mu kugezesebwa okwabadde mu district ye masaka, abazanyi baagezeseddwa mu mizannyo egyenjawulo omwabadde okudduka, okukanyuga olunyago, okukanyuga effumu nemirala. Bano baakweyongerayo mu bitundu ebirala okuli Gulu ne Soroti nga yonna banoonya bitone mu bantu abaliko obulemu.
Nabisenke agamba nti bandiyagadde okugenda mu buli kanyomero keggwanga nga banoonya baantu bano naye ensimbi ezibeekubya empi tezibasobozesa kutuukiriza birooto byabwe.