Ebyemizannyo

St. Michael ssonde ne Seroma beetisse empaka z'omuzannyo gw'ensero mu district ye Mukono

St. Michael ssonde ne Seroma beetisse empaka z'omuzannyo gw'ensero mu district ye Mukono

Abazanyi ba Seroma nga bajaganya oluvannyuma lwokuwangula mu bawala
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

St. Michael HS 35 - 32 Seeta High A
Bawala   
Seroma Christian 45 – 22 Naalya SS
Essomero lya St. Michael High School Ssonde lyakoze ebyafaayo oluvannyuma lwokuwangula ekikopo kya district ye Mukono ekyomuzannyo gwensero omulundi gwabwe ogwasookedde ddala.

Emizannyo gino egyazanyiddwa mu lwomukaaga gyanyumidde ku university ya seeta e Mukono.
Oluzannya olwakamalirizo olwanyumidde abalabi st michale yakubye abategesi aba seeta ensero 35-32. Seta yatandise namaanyi bweyakulembedde quarter eyasoose ensero 12-5, wabula st michale yakomyewo namaanyi mu qurter eyokubiri era ekitundu ekisooka nekiggwako nga seta ekikulembedde ensero 20-19.  

Abazanyi ba st. Michael Ssonde nga bajaganya oluvannyuma lwokukwasibwa ekikopo

Abazanyi ba st. Michael Ssonde nga bajaganya oluvannyuma lwokukwasibwa ekikopo

 
Okutuuka wano aba st michale basoose kuwandulamu nantameggwa womwaka oguwedde St. Cyprian High School Kyabakadde gyebakubye ensero 42-28 mu muzannyo ogwatadde abalabi ku bunkenke.
Yo Seeta High A Compass yabadde emaze okuggyamu baliraanwa baabwe aba Seeta High Main Campus ku nsero 50-38. Kyabakadde yakutte ekifo kyakusatu oluvannyuma lwa Seeta High Main Campus obutalabikako mu gwokulwanira ekyokusatu.

Abazanyi ba st. Michael Ssonde nga bajaganya oluvannyuma lwokukwasibwa ekikopo

Abazanyi ba st. Michael Ssonde nga bajaganya oluvannyuma lwokukwasibwa ekikopo


Mu nsero eyabawala Seroma Christian High School yedizza ekikopo kyeyatwala omwaka oguwedde oluvannyuma lwokukuba Naalya SS 45-22 ate nga yo kyabakadde yakutte kyakusatu mu gwabawala bweyakubye Seeta High 33-12.
Tiimu zabalenzi zonna ezaatuse ku luzannya olwakamalirizo zaayiseewo okukiikirira Mukono mu mpaka zomwaka guno eza National Ball Games I ezigenda okutojjera ku ssomero lya Seroma Christian high school ku nkomerero yomwezi guno. Bano baakwegattibwako forest hill okuweza amassomero ataano ate nga bbo abawala baakutwala tiimu ssatu zokka. 

omuzanyi wa st. Michael nga attunka nabazibizi ba St. Cyprian Kyabakadde

omuzanyi wa st. Michael nga attunka nabazibizi ba St. Cyprian Kyabakadde


Richard Muhumuza ssentebe wekibiina ekitwala emizannyo mu zooni yemukono yatenderezza amassomero ageetabye mu mpaka zomwaka guno ezokusunsula olwomutindo ogwayoleseddwa. Muhumnuza mugumu nti siga banaazannya bwebati ekikopo kyomuzannyo gwensero kyakusigala Mukono mu mpaka zeggwanga lyonna ziyite nationals