Bafunye ebyassava
Dec 27, 2023
ABAAGUSAMBAKO abeegattira mu kibiina kya Former Footballers’ Initiative (FFI) beegasse ku ffamire y’omugenzi Pasita Daniel Nkata ku kkanisa ya Reachout Village Ministries e Munyonyo okujjukira omwoyo gw’omugenzi oyo eyaliko omuzannyi w’omupiira.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAAGUSAMBAKO abeegattira mu kibiina kya Former Footballers’ Initiative (FFI) beegasse ku ffamire y’omugenzi Pasita Daniel Nkata ku kkanisa ya Reachout Village Ministries e Munyonyo okujjukira omwoyo gw’omugenzi oyo eyaliko omuzannyi w’omupiira.
Omugenzi Nkata yazannyirako National Insurance Corporation (NIC) ne Lint Marketing Board mu gy'e 70 nga yafudde mu February w'omwaka guno.
Pasita Paul Musisi akulira FFI agamba nti omugenzi yali ayagala nnyo omupiira era yalina ne ttiimu eyitibwa ‘Bayern’ ezannyira e Salaama mu Makindye.
"Nali mmutwala nga kitange ate era mukwano gwange kuba yankimanga okuva e Nakulabye n'adeeta okumusambira omupiira mu ttiimu ye. Yali afaayo nnyo ku mbeera y’abaagusamba okuviira ddala mu myaka gy'e 70 era mu 2022, yatuwa emmere n’ensako ya 7,000,000/- ze twassa mu SACCO yaffe," Musisi bw'agamba.
Ne ku mulundi guno, aba ffamire baawadde aba FFI n'ettu lya Ssekukkulu kuba omugenzi nga tannafa, yategeeza nti ab'ekibiina kino yali abayingizza mu ffamire ye eya 'Bankata'.
Nnamwandu Margrate Nantumbwe agamba, omugenzi yali ayagala nnyo abaasamba omupiira kuba teyakomanga kubanyumyako buli kiseera wabula era yali ayagala nnyo okubawuliza amanye embeera mwe bali
No Comment