Arsenal ezzeeyo mu katale ku muteebi

ARSENAL ezzeeyo mu katale okuyigga omuteebi oluvannyuma lwa Kai Havertz okufuna obuvune.

Arsenal ezzeeyo mu katale ku muteebi
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo #Katale #Muzannyi #Arsenal

ARSENAL ezzeeyo mu katale okuyigga omuteebi oluvannyuma lwa Kai Havertz okufuna obuvune.

 

 Ku Lwokusatu abasawo ba ttiimu eno, baategeezezza nti Havertz ayinza okumala akabanga akawera nga tazannya kuba evviivi lyakoseddwa nnyo.

 

Obuvune yabufunye battunka ne ManU gye baakubye (1-0) mu gwagguddewo Premier. Havertz yeegasse ku muteebi wa ttiimu eno omulala, Gabriel Jesus eyasooka okulwala.

 

 Kati Arsenal esigadde kutunuulira, Gabriel Martinelli ne Viktor Gyokeres eyaakeegatta ku ttiimu.

 

Omutendesi wa ttiimu eno, Mikel Arteta yagambye nti okulwala kwa Havertz ddibu ddene nnyo kuba yeetaaga buli muzannyi nga mulamu.