Aba Royal Milk bawadeyo liita 1000 ez'amata eri ab’e Katanga.
Bukedde Fama leediyo embuutikizi nga ejaguza okuweza emyaka 15 , yasazeewo okuduukirira abantu be Katanga n'ebikozesebwa.
Kaweefube ono wakubeerawo omwezi guno nga 27.
Kirunda Abdul Sudais owa Royal Milk ategeezezza nti Bukedde Fama eweereza abantu ababulijo era yensonga lwaki bavuddeyo okugikwatirako.
Kumukolo guno kwetabidwako abakozi ba leediyo eno kwosa ne Micheal Ssebowa akulira olupapula lwa Bukedde