Omukazi atutte bba mu kakiiko k'ekyalo n’amulumirizza obukodo,obwenzi n'okwejjuliranga emmere

JAMIRAH NAMAYANJA  ow’emyaka 33 yatutte bba Nsubuga Rajab mu kakiiko k’ekyalo ng'amulumiriza ng'obwenzi  bw'abulinamu n’ebbaluwa kwossa n’okwejjuliranga emmere omukyala ky'akooye.

Rajab Nsubuga gwe balumiriza obwenzi ne Jamirah Namayanja ng'ayoza kumunye.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#omukazi #bba #obukodo #kakiiko #obwenzi

Bya Florence  Tumupende

JAMIRAH NAMAYANJA  ow’emyaka 33 yatutte bba Nsubuga Rajab mu kakiiko k’ekyalo ng'amulumiriza ng'obwenzi  bw'abulinamu n’ebbaluwa kwossa n’okwejjuliranga emmere omukyala ky'akooye.

Namayanja  agamba nti olwamunenyezaako okwedda ku mize kwe kumuggyako omwana ow’omwaka ogumu okumala ennaku bbiri nga tayonse.

Bino bibabadde mu Zone ya Katovu Central mu Tawuni kanso y'e Katovu mu disitulikiti ey’e Lwengo.

Namayanja akaabidde mu lukiiko  ng'alumiriza bba nga bwasuse okugwanga mu ssefuliya amatumbibudde nga yejjulira emmere awamu n’obwenzi, ekitabudde bba n'amusaba abuulire akakiiko omuntu yenna gweyali amukutte naye.

Namayanja amumenyedde abamu ku bakazi bba baganza omuli ne bannamwandu n'abafumbo era ne yeewuunya ssente zabaawa ng'awaka tabawa yadde 1,000/- olw’okukozesa era n'awera obutadda mu makaage okutuusa ng' amuletedde omwanawe.

Jamirah Namayanja Ne Mukwano Gwe

Jamirah Namayanja Ne Mukwano Gwe

Nsubuga asambaze ebigambo bya mukyalawe by'agambye nti byabulimba kuba n’engoye omukazi zalina yaazigula.

Ono naye yamulangidde nga  bw'asusse okumuleeteranga olukunkumuli lw’abaana bataazaala ng’ate bweyali amuwasa teyamusanga n’abaana.

Nsubuga eky’okukomawo amatumbibudde asesezza akakiiko  nga bwabeera ku kamera y’edduuka nga akyajekebejja.

Akola kunsonga z’amaka n’abaana ku kyalo kino, Nakawombe Manda Mapya n'abakulembeze abalala babuuridde abafumbo bano buli omu awe munne ekitiibwa ne basaba n'omusajja okukomya obwenzi .

Oluvannyuma omusajja yeetondedde mukyala we nga bw'atagenda kuddamu emize gyonna era n'atumya n’omwana gye yabadde omukwese.