KCCA eboye ebintu by'ababadde batunda eby'abayizi abadda ku ssomero

ABASUUBUZI n’abatembeeyi abayiye emmaali yaabwe ku nguudo baguze bakaasitoma bakiguddeko abaserikale ba KCCA bwe bakoze ekikwekweto ne bagibowa ne bagitikka ku mmotoka ne bagitwala.

KCCA eboye ebintu by'ababadde batunda eby'abayizi abadda ku ssomero
By Eria Luyimbazi
Journalists @New Vision
#KCCA #Kibuga #Ssomero #Bayizi

ABASUUBUZI n’abatembeeyi abayiye emmaali yaabwe ku nguudo baguze bakaasitoma bakiguddeko abaserikale ba KCCA bwe bakoze ekikwekweto ne bagibowa ne bagitikka ku mmotoka ne bagitwala.

Bino byabaddewo ggulo ku Lwokusatu abaserikale ba KCCA bwe baagenze ku nguudo ez’enjawulo mu Kampala ne babowa emmaali ya basuubuzi gye babadde bayiye bayiye ku nguudo nga bwe bayita bakaasitoma okubaguza  naddala ababadde baagala ebintu bya bayizi abadda ku masomero.

Aba KCCA nga banywezezza omu ku batembeeyi abaabadde batundira ku kkubo.

Aba KCCA nga banywezezza omu ku batembeeyi abaabadde batundira ku kkubo.

David Ojur, eyakuliddemu abaserikale ba KCCA yagambye nti abatembeeyi basusse okweyiwa ku nguudo ne batandika okutundirako ebintu nga n’abamu babadde bakolera mu bifo eby’obulabe okuli ababadde batimbye ebintu ku tulansifooma za masannyalaze naddala ku mulyango oguyingira mu  Kikuubo nga n’emabegako emu ku zzo yabaluka.

Yagambye nti era bakizudde nti waliwo abasuubuzi abafulumizza emmaali yaabwe mu maduuka ne bagiyiwa ku nguudo ate abamu ne bagiwa abavubuka babatundire ku luguudo  ne ku mbalaza z’ebizimbe ne baziba abatambuza ebigere we balina okuyita.

Omusajja ng'alwana okutaasa emmaali ye, owa KCCA obutagitwala.

Omusajja ng'alwana okutaasa emmaali ye, owa KCCA obutagitwala.

Yategeezezza nti enguudo ezisinze okubeerako abatembeeyi kuliko Ben Kiwanuka, Ssebaana, Allen Road, Nakivubo Road ne ku mulyango oguyingira mu Kikuubo nga kino kivuddeko okusikiriza abamenyi b’amateeka okubeerimbikamu ne babba n’okusala ensawo.

Yagambye nti ebikwekweto by’okugoba abatembeeyi n’abatundira mu bifo ebikyamu byakugenda mu maaso nga abasuubuzi ababadde bafulumizza ebintu babizzeeyo mu maduuka.