Baleese obutambi obulaga eby'obugagga abagambibwa okutta Magara bye baali baguze.

Sep 18, 2024

Obutambi bulaze nga basimbula ku kitebe kya CID e Kibuli ng’abawawaabirwa bamaze okukakasa boofiisa nti bamanyi awali ettaka eryagulibwa kwe baali batandise okuzimba amayumba n’ebintu ebirala.

By Margaret Zalwango
Journalist @New Vision
Abalabi 1

Omujulizi Robert Icoot okuva ku kitebe kya bambega e Kibuli aleese obutambi buno bwe baakwata ng'abawawaabirwa bannyonnyola bye baali baguze ku bukadde 700 ze baali bafunye okuva ku baffamire ya Suzan Magara bwe baali bamuwambye.

Obutambi bulaze nga basimbula ku kitebe kya CID e Kibuli ng’abawawaabirwa bamaze okukakasa boofiisa nti bamanyi awali ettaka eryagulibwa kwe baali batandise okuzimba amayumba n’ebintu ebirala.

Omu Ku Bawawaabirwa Ng'alambuza Abaserikale Ettaka Lye Baagula E Bukuya.

Omu Ku Bawawaabirwa Ng'alambuza Abaserikale Ettaka Lye Baagula E Bukuya.

Ettaka eryasooka baali baliguze ku kyalo Bubwa e Lugoba mu ggombolola y’e Bukuya e Mubende ku lubalama lw’ennyanja Nalubaale wakati mu kibira nga baali batandise okuzimbako ebizimbe.

Ettaka lyali lya yiika 35 era baaligula obukadde 140 okuva ku gwe baayogeddeko erya Luganda. Eno Yusuf Lubega ne Abubaker Kyewolya be baakulemberamu.

Lubega era yagamba nti yali yaweebwayo akakadde kamu kwe yapangisa ennyumba e Kkonge Lukuli, n’agulako eby’omu nnyumba era ‘nakanika ne piki piki ye.

Akatambi akalala kaalaze ettaka yiika emu lye baali baguze e ssemuto ku bukadde 13 era nayo baali bazimbyeyo ennyumba nga basimbye n’emmere.

 

Eno baategeeza nti baali bagenda kolako limbo kuziikako Basiraamu. Icoot mujulizi wa 21 ow’oludda oluwaabi abadde akulembeddwa Sherifah Nalwanga ng’ayambibwako Irene Nakimbugwe ne Joseph Kyomuhendo era okuwulira omusango kuli mu kkooti enkulu mu Kampala mu maaso g’omulamuzi Alex Ajiiji Mackay.

Abawawaabirwa omwenda ye Yusuf Lubega, Hussein Wasswa, Muzamir Ssali, Hassan Kato Miiro, Abas Musa Buwembo, Abubaker Kyewolwa, Mahad Kisaliita, Ismael Bukenya ne Hajjara Nakandi be bawerennemba n’ogw’okuwamba Suzan Magara nga February 7, 2018 oluvannyuma ne bamutta omulambo ne bagusuula e Kitiko Mutungo ku Entebbe Express Highway.

Related Articles

No Comment