MARY Nakato Nakiwala,92 eyayatiikirira ennyo mu kufumba emmere mu birabo eby'enjawulo nga Mulongo Nakato yavudde mu bulamu bwensi.
Yatandika Ekirabo ky'emmere ekiyitibwa 'Ani Yali Amanyi' mu 1979 ku Burton Street mu Kampala oluvanyuma ne kikyuka ne kidda ku Pioneer Mall.
Mu bizinensi eyo yafunamu ssente era abadde omukyala gw'ogamba nti ssente si kizibu ky'e. Olw'ava mu mmere mu 1995 n'atandiika ekkolero lya bulooka ku Bata Bata ku luguudo lw'e Ntebe era ne waafiridde y'abaddde akyaddukkanya ekifo kino.
Abakungubazi nga bateeka ekimuli ku mugenzi
Abadde Omukulisitaayo omukukuutivu mu Kanisa y'Abajjuluzi e Katwe mu Kampala era omuvujjulizi w'emirimu gyaayo n'Obwakabaka.
Ono yavudde mu bulamu bwensi ku Lwokuna January 2,2025 mu ddwaliro e Nsambya mu Kampala oluvanyuma lw'okutawanyizibwa obulumi obw'enjawulo okuli okusanyalala.
Omulongo Nakiwala ye nnyina w'Eyaliko Minisita wa Kabaka avunanyizibwa ku by'obulambuzi Rita Namyalo Waggwa era Mukyala w'Omumyuka ow'okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa.
Bwabadde atuusa Obubaka bw'Obwakabaka mu kusaba okwategekeddwa okujjukiriza obulamu bw'Omugenzi e Katwe ku lwa Mmande January 6,2025,Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda, Polof. Twaha Kigongo Kaawaase yeebazizza Omugenzi olw'okugunjula abaana omuvudde abantu Kabaka mwaggye abawereeza.
" Twebaza omugenzi olw'okukuza abaana mu mpisa n'obuvunanyizibwa nga muno Kabaka mwaggye Abamu ku bawereeza b'Obwakabaka. Okuzaala n'okukuza saako okugunjula buvunanyizibwa buli muzadde bwalina okusaako essira nga tulabira ku Maama waffe ono," Polof. Kaawaase bweyebazizza omugenzi.
Okusaba kuno kwakulembeddwamu Can. Mmembe Kijjambu, Ssabadinkoni we Mmengo ng'okubuulira kukoleddwa Can. BK Buwembo, Ssabadinkoni we Nateete.
Abakungubazi nga bali mu kusabira omwoyo gw'omugenzi
Can. Buwembo ayongedde ku Mugenzi ng'abadde teyeeganya kutoola kyonna kyolina okutambuza emirimu gya Katonda n'akubiriza abantu abalala obutalindanga kusikasikanyizibwa,mu kuwagira emirimu gy'ekanisa.
Ku lw'abako, Waggwa Nsibirwa yayogedde ku mugenzi ng'omuntu abadde ow'ebikolwa ng'omukululo gwe mukwaafu mu ngeri buli kyabadde ayigiriza abaana be okuli okusaba, okwekwata ku Katonda, okukola ennyo, obutazanyisa ssente, okwagala abantu byonna naye byaabadde akola.
" Nsaba abazadde mwenna mufunye omukululo gwammwe gubeere gwa bikolwa so si kulinda kuteeka byemwagala abasigadde ku nsi mu kiraamo ng'ate mwe nga mukyali ku nsi,temwabikolanga," Waggwa bweyawabudde.
Ku lw'abaana Namyalo Waggwa ng'era Mmemba ku Lukiiko olufuga Buganda Land Board, yeebazizza bonna abababeereddewo mu kiseera kino eky'okunyolwa saako abasawo ku mitendera gyonna ababaddewo mu kujjanjaba omugenzi.
Mulongo Nakiwala abadde Mukyala wa Erukaana Ssegane, Ssemaka omuggundiivu mu bitundu by'e Kira. Mu kiseera abadde abeera Kitiko Mutungo mu munisipaali ya Ssabagabo Makindye gyeyazimba amaka ag'amaanyi era emmaali agirese mu 'Trust' egitambuza.
Mu kusoma kwe, yakoma mu kibiina Kya kusatu (P3),kyokka yafuba okulaba ng'abaana be bonna abasoma era bayivu bazibu nga bangi ku baana 10 beyazaala (nga bonna bakyali balamu) babeera mu Amerika.
Omugenzi wakuziikibwa ku Lwokubiri January 7,2025 ku kyalo Kikondo e Semuto-, Bulemeezi.