Enkuba ekedde okufudemba esse abantu babiri e Kawempe
Mar 26, 2025
ENKUBA ekedde okutonnya ku makya ga leero esse abantu babiri okubadde George Bogere 63 omutuuze we Gayaza Makenke ng’abadde akola obwa Securiko mu kkampuni Security Brasoz Airline gy’abadde akedde okugenda okukola naagwa mu mwala gwa Walufumbe ate omulala amanyiddwa nga ategerekeseeko lya Mic ng'abadde akola ku Breakdown ewa Kibe mu munisipaali ye Kawempe.

NewVision Reporter
@NewVision

Abantu nga bakung'aanidde ku mulambo
Moodu Kibe akulira eby’okwerinda mu kibe zooni mu muluka gwa Makerere III yategeezezza nti Mic yabadde alina omwana omuto gw’’ataasa okumuggya mu nju eyabadde eyingiddemu amazzi we yakwatidde ku baati nga liriko amasannyalaze ne gamukuba n’afa .
Enkuba yakosezza ebitundu ebyenjawulo okuli Bwaise , Kaleerwe , Kanyanya , Gayaza , Kyanja , Kasubi ng’eno amayumba gagudde , emiti , amazzi okwanjaala mu ma kkubo ekyaviriddeko akalipagano k’ebidduka .
Poliisi ngy'eggyawo omulambo
Emmanuel Sserungogi mmeeya we kawempe yategeezezza nti enkuba eyatonye ku luno tolina gwoginenyeza kuba etonnye ggwanga lyonna ng’ate mbi yagambye nti bali ku kawefube ku gogogoola mwala gwa Nsooba Channel n’asaba ne KCCA ku kugogoola omwala gwa Luigi kuba baagugogoolako akatundu nga pulezidenti agenda e kawempe we byakola.
No Comment