Bamusibye emyaka 35 lwa kutta Kagezi

May 20, 2025

LUYIMBAAZIDANIEL Kisekka Kiwanuka asibiddwa emyaka 35, oluvannyuma lw’okukkiriza bwe yeetaba mu kutta eyali omumyuka w’omuwaabi wa Gavumenti, Joan Kagezi.Kisekka yalabiseeko mu maaso g’abalamuzi 4 aba kkooti enkulu ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna e Nakasero n’akkiriza okwetaba mu butemu buno ng’ali wamu ne John Kibuuka, John Masajjage ‘Mubiru’ ne Nasur Abdullah Mugonole nga March 30, 2015 e Ki-watule okuliraana Klezia ya St. Mbaga Tuzinde

NewVision Reporter
@NewVision

LUYIMBAAZIDANIEL Kisekka Kiwanuka asibiddwa emyaka 35, oluvannyuma lw’okukkiriza bwe yeetaba mu kutta eyali omumyuka w’omuwaabi wa Gavumenti, Joan Kagezi.Kisekka yalabiseeko mu maaso g’abalamuzi 4 aba kkooti enkulu ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna e Nakasero n’akkiriza okwetaba mu butemu buno ng’ali wamu ne John Kibuuka, John Masajjage ‘Mubiru’ ne Nasur Abdullah Mugonole nga March 30, 2015 e Ki-watule okuliraana Klezia ya St. Mbaga Tuzinde.Mu bujulizi bwe yeewaddeko, yagambye nti baaweebwa buli omu emitwalo 50 okukola obutemu buno era bwe baamala okutta Kagezi baagenda ku musawo w’ekinnansi, Joseph Olowo e Kayunga okusiba omusango.Kisekka yategeezezza kkooti nti yali mujaasi mu magye ga UPDF nga yagayingira mu 2003 kyokka mu 2006 yagaddukamu, era yabbayo emmundu ekika kya AK47 ne magaziini 5 ezaa-limu amasasi. Ng’ayambibwako Kibuuka, yava e Gulu n’ajja e Kampala n’asisinkana Mugonole ne Masajage e Nabweru ne batandika okweny-igira mu bunyazi bw’emmundu. Mu 2008 mu bikwekweto bya Opera-tion Wembly eby’okufuuza ababbi, Kisekka y’omu ku baakwatibwa n’atwalibwa mu kkooti y’amagye e Makindye ne bamusindika ku limanda gye yamala emyaka 6 n’atolokayo n’agenda yeekweka e Kayunga.Mu 2015, Kibuuka yamusisinkana e Kayunga n’amusomera ddiiru y’okutta Kagezi nga baali balowooza nti ye Mulamuzi ali mu nsonga z’Abasiraamu era baabasuubiza ssente emit-walo 20 egya doola. Baasooka kuweebwako obukadde 2. Kisekka yagambye nti Kibuuka ye yabaleetera emmundu ne ppikiki bbiri ze baakozesa mu butemu buno.Ku lunaku lwe battirako Kagezi, baamugober-era mu mmotoka gye yali avuga UG 0586J mwe yali n’abaana be era ku ssaawa 1:00 ey’ekiro Kibuuka n’amukuba amasasi 2 ku nsingo ne babulawo.Oluvannyuma baasisinkana e Kanyanya Kisekka n’abatwala ku musawo w’ekinnansi e Kayunga okubasibira omusango n’omuzimu gwa Kagezi obutabalondoola. Ye baamulekayo e Kayunga wabula oluvannyuma lw’emyaka 8 baabakwata. Kisekka ye yakkiriza omusango era yayambako abanoonyereza okubatwala mu bifo gye baakolera ddiiru.Abalamuzi abaakulembeddwa Micheal Elu-bu, Steven Mubiru, Nabisinde ne Celia Nagawa baasibye Kisekka emyaka 35 nga basazeeko omwaka gumu gw’abadde ku limanda.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});