Guno era gujja kulagibwa wakati w’essaawa 3:00 ez’oku makya ppaka ssaawa 5:00 ez’okumakya ku ttivi za Vision Group zonna omukaaga , ku app ya New Vision ate guwagibwe empapula ne leediyo mu kukutuusaako ebikulu ebinaabaawo.
Vaidya Rupesh, maneja w'abakitunzi ku Tile Centre ne Don Wanyama, akulira Vision Group
Omwoleso guno gujja kukung’aanyiza wamu abakulu mu katale kano ak’ebyokuzimba. Sekita ezimu ezigenda okubaamu kuliko aba Real Estate developers / Agents, eby’embalirira n’ensimbi, kkampuni z’ebyettaka n’ezisiga ensimbi, eby’amasannyalaze, n'amazzi.
Catherine Tamale akulira bakitunzi ku Comfort Homes
Mu birala mulimu amafumbiro, ebinaabiro, okusiiga langi, okuzimba n’ebizimbisibwa, eby’okusereka, ebikozesebwa awaka, yinsuwa, Eby’amaanyi g’enjuba, ebintu ebikolebwa mu nkokoto, okuwunda munda w’ennyumba yo, eby’obukuumi n’obutebenkevu.
Ebyabadde mu kutongoza omwoleso guno ku kitebe
Omwoleso gugenda kuwa omwagaanya abantu okulaga ebintu ebipya n’ebitutumufu ku katale. Abakugu bajja kukyazibwa era bannyonnyole mu buziba ku bintu ebiyindira mu sekita eno. Omwoleso guno gusuubirwa okulabibwa abantu abali mu bukadde 22.
Fiona Tamale, (mu masiki ya bbulu) akulira ebivvulu mu kkampuni ya Vision Group
Philemon Mubiru akulira bakitunzi mu kkampuni ya Hima Cement
(Ebifaananyi bya Ismail Mulangwa)