Amazzi gasinze kutataaganya mmotoka, ppiki n'abatambuza ebigere mu bitundu okuli Nakawa-Kyambogo, ne Banda.
Bo abamu ku babadde basiseeyo amasimu gaabwe okukwata amazzi bawuliddwako nga balaajana oluvannyuma lw'ekibinja ky'abavubuka ababadde beefudde abayambi, okugababbako.

Abantu nga beggamye enkuba ku mafuta agamu e Nakawa

Jjaamu ku Ssande!!!

Abakyala bano baasazewo kwebikka buveera nga minvuuli zibuze

'Mpeeka bwe tusala tuteese, ono omukyala ndowooza eby'okulinnya mu mazzi yabadde taabisobole n'asalow bamusitule

Amazzi gasaze wonna

Ono tetwategedde oba yabadde apaakinze mmeeri oba mmotoka!

N'omuntu akuyamba okusala amazzi nga bw'akukwatirira taba mwangu!!


Owabbooda ng'agezaako okusaza ekyuma kye

Ndowooza guno gwe bayita omwoyo gwa Buganda ogutafa!