Micho atuviire ku ttiimu - bawagizi

"Tetusobola kubeera ku kisaawe nga tulaba omupiira gwa ttiimu y'eggwanga nga n'ogwa masomero gugusinga okunyuma n'okutuwa essanyu," Abawagizi ba Cranes bwe baagambye.

Abamu ku bawagizi abaabadde e Kitende
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision
#cranes #micho #afcon

ABAWAGIZI ba ttiimu y'eggwanga ‘The Cranes’ baavudde e Kitende nga beekokkola omutindo ogw'ekiboggwe omutendesi Micho Sredejovic gwe yayolesezza nga balemagana ne Niger ku Lwokusatu mu mpaka z'okusunsula abalyetaba mu AFCON omwaka ogujja. 

micho

micho

Obwedda abawagizi bagamba nti Micho abaviire ku ttiimu kuba yafuuka musuubuzi w'abazannyi mu kisaawe era y'ensonga lwaki ttiimu ekyabonaabona. 

Bagambye nti Micho n'abazannyi okuli Emmanuel Okwi, Miya Farouk, Bevis Mugabi ne Khalid Aucho babaviire ku ttiimu y'eggwanga. 

Ggoolokipa wa Niger ng'alemesa owa Cranes okumuteeba.

Ggoolokipa wa Niger ng'alemesa owa Cranes okumuteeba.

Abamu obwedda bagamba nti tebajja kudda mu kisaawe nga ttiimu y'eggwanga ekyazannya omupiira ogw'essomero kuba tekyabeyagaza.