EKIBIINA ekifuga omuzannyo gwa Volleyball mu ggwanga kizzeemu okuzza obuggya endagaano y’omutendesi wa ttiimu y’abakazi Tony Peter Lakony wakati nga beetegekera ez’okusunsulamu amawanga ga Zone V aganeetaba mu mizannyo gya Afrika (All African Games qualifiers).
Lakony abadde omutendesi wa ‘Lady Volleyball Cranes’ okuva 2007 wabula mu 2015 yasuulawo ttawulo okumala emyaka ebiri, omulimu ne guweebwa Johnson Kawenyera okutuusa sizoni ya 2018.
2019 Lakony yakomawo nga kati endagaano ebadde eweddeko wabula Pulezidenti Sadik Nasiwu ne UVF ekibiina ekifuga omuzannyo ne basalwo okugizza obuggya.
Ono oluvannyuma lw’okuzza obuggya endagaano yayungudde ttiimu y’abazannyi 20 ng’ayambibwako omumyuka Bart Munting ne Mariam Nakamya okutandika okutendekebwa nga beetegekera eza Zone V ez’okuzannyibwa mu June w’omwaka guno nga Uganda y’erina enkizo okuzikyaza.
Ttiimu yatandikiddewo okutendekebwa ku African Bible University e Lubowa nga balindirira okubbinkana n’amawanga 12 aga Zone V okuli; Kenya, Tanzania, Rwanda, Burundi, South Sudan, Sudan, Ethiopia, Misiri, Eritrea, Somalia, Djibout ne Uganda.
Ssinga akalulu kakwata Uganda okutegeka eza Zone V zino, gujja kubeera mulundi gwakubiri okuva mu 2014 lwe basookera ddala wabula baakubwa Kenya ku fayinolo ne basubwa okukiika. Eza Afrika ez’omulundi guno zaakubeera mu kibuga Accra ekya Ghana mu August w’omwaka guno.
“Omulundi guno tutandise okutendekebwa nga bukyali kuba ttiimu nnyingi ze tugenda okubbinkana nazo, twetaaga okukola ennyo olw’okuvuganya okugenda okuba okungi,” Lakony bwe yategeezezza.
Abazannyi abayitiddwa.
Joan Tushemereirwe, Ketty Aluka, Eunice Amuron, Supernatural Mbakusiimira ne Margaret Namyalo (aba KCCA), Moreen Mwamula, Agnes Akanyo, Oliver Acan ne Hadijah Otin (aba OBB), Comfort Twesiime, Doreen Akiteng, Diana Asiimwe ne Patricia Musubika (aba Sport-s), Catherine Ainembabazi (Ndejje Elites), Monica Aloyo, Habibah Namala ne Jennifer Alungat(KCB Nkumba), Scholar Akello (VVC), Mouricia Nabuma (KAVC), Evas Nayebare (UCU)