UCU Lady Cardinals 1-1 Kawempe Muslim
NG’ABA UCU bakyajaganya okuwangula liigi y’abakazi mu basketball bwe baakubye JKL ku seeti (4-3), Kawempe Muslim ebasirisizza bw’ebalemesezza wiini eyokuna ey’omuddiring’anwa mu mupiira gw’abakazi.
UCU Lady Cardinals yakoze amaliri ne bagiremesa okulinnya ku ntikko ya liigi y’abakazi (FUFA Women Super League). UCU, yakyazizza Kawempe mupiira gwe yabadde yeetaaga okuwangula okussa akazito ku Kampala Queens ekulembedde n’obubonero 12 mipiira 4 gye bakazannya sizoni eno.
Sharon Nadunga eyali omuteebi wa Kawempe sizoni ewedde ye yabekubidde mu ddakiika 65 so nga Shakirah Nyinagahirwa ye yafunidde Kawempe ey’ekyenkanyi ng’omupiira gubulako eddakiika ntono okuggwa. UCU yasigadde mu kyokubiri n’obubonero 10 so nga yo Kawempe yazze mu kyamukaaga ku bubonero 5.