Ebifaananyi

Bakunyizza mulekwa ku by'okutunda ettaka ly'ekkanisa

BANNAMATEEKA ba St. Peters Church Ndeeba bakunyizza mulekwa w’omumbejja Evelyn Nachwa ku nsonga z'ekyapa okwali ekkanisa eno eyamenyebwa. Bawakanya eky’okubeera ng’ekyapa kino yakitereka mu bbanka.

Abakrisitaayo b'ekkanisa ya St. Peters Ndeeba nga bava mu kkooti.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BANNAMATEEKA ba St. Peters Church Ndeeba bakunyizza mulekwa w’omumbejja Evelyn Nachwa ku nsonga z'ekyapa okwali ekkanisa eno eyamenyebwa. Bawakanya eky’okubeera ng’ekyapa kino yakitereka mu bbanka.
Edward Balunga yazzeemu okuwa obujulizi mu kkooti y’omulamuzi Dr. Christine Echookit Akello owa kkooti enkulu etaawulula ensonga z’ettaka. Balunga ng’asoyezebwa ebibuuzo okuva ewa munnamateeka w'ekkanisa eno, Edward Kato Ssekabanja yagambye kkooti bw'ali omu ku baddukanya ebyobugagga bya Nachwa.
Okukakasa kino, yaleese ebimu ku biwandiiko okuli ekiraga engeri gye baagabanyaamu ebyobugagga bya nnyaabwe, kye baasabirako okuzza obuggya obuyinza okuddukanya ebyobugagga bino nga kino baakikola omwaka oguwedde.
Yategeezezza nti, baafuna ebyapa musanvu ebya maama waabwe okuva mu bbanka ya Barclays (kati ABSA Bank) era ng’ayanjudde block ne plot zaabyo. Kyokka Ssekabanja yamuwakanyizza nti mu byapa ebyo temwalimu kyapa Block 7 Plot 39, okutudde ekkanisa eno kuba Nachwa yali yatunda dda.
Balunga yagambye nti, ensonga ezo yali tazimanyiiko wamu n’okukutula mu kyapa ekyo. Yawakanyizza n'ekyokufuna ekyapa eky’enjawulo okuva mu bbanka (Special Tittle) era ebiwandiiko ebimu bye baaleese mu kkooti n'ebyogera ku kifo maama gye yali abeera yabiwakanyizza nti bijingirire.
Omukugu mu kwekenneenya ebiwandiiko, Apollo Ntalirwa naye yawadde obujulizi ku biwandiiko ebyaleetebwa n'awaayo lipooti ku biwandiiko ebyamuweebwa okwekenneenya. Omulamuzi Akello yagwongeddeyo okutuusa nga August 31, 2026