Ebifaananyi

Ebyapa 700 byakubwa ku ttaka ly’ebibira

ABAKULIRA eby’ebibira mu Greater Masaka bali mu kattu, olw’ebyapa ebisoba mu 700 ebyakubwa mu bibira bya Gavumenti era

Minisita w'ebyettaka, Judith Nabakooba ng'ali e Masaka ku nsonga z'ettaka.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABAKULIRA eby’ebibira mu Greater Masaka bali mu kattu, olw’ebyapa ebisoba mu 700 ebyakubwa mu bibira bya Gavumenti era
nga bannyini byo balima njaga, mmwaanyi, okusala embaawo n’okwokerayo amanda.
Kumpi ebibira bya Gavumenti byonna ebiwera 29 kuliko ebyapa. Bino bisangibwa mu disitulikiti 10 eziri mu Greater Masaka okuli;
Ssembabule, Rakai, Kalangala, Masaka n’awalala kyokka nga n'awatudde ekitebe kya National Forestry Authority mu Masaka City waliwo abagezigezi abeefunirako ebyapa!
Avunaanyizibwa ku kukuuma ebibira bya Gavumenti mu kitundu kino, Robert Mubokhisa yategeezeza nti abakuba ebyapa bino basinga kweyambisa nnaku nkulu ne wiikendi ne balipunta nga teri abakuba ku mukono. N'agattako nti, enfunda nnyingi bazze bagobagana n'abaagala okwezza ekitebe kyabwe we kitudde.
Mubokhisa agamba nti, okukuuma ebibira kubakaluubiridde olw’abakozi abatono kuba bali 10 bokka kyokka nga n'eggye
eryabaweebwa okubayambako nabo omuwendo mutono.
Yagasseeko nti, gye buvuddeko abakuumi baabwe babiri battibwa abantu abakozesa eryanyi okweddiza ebibira. Agattako nti, n'abavubi abaagobwa ku nnyanja olw’envuba embi beesogga bibira naddala e Bukakata ne Buwunga.
Yagambye nti, basazeewo bapatane ne bbanka z'ebyobusuubuzi, ebibiina by’obwannakyewa n’abantu mu bitundu ebyo okuddamu okusimba emiti, okuzzaawo ebibira ebisaanyiziddwaawo.
Avunaanyizibwa ku bibira bya Gavumenti mu kitundu kino, Esther
Nekesa obunafu bw’okukuba ebyapa abutadde ku batwala obukiiko
bw’ettaka b'agambye nti beekobaana n'abantu ba bulijjo okufuna obwannannyini mu bibira. N'agamba nti, gye buvuddeko abantu abasoba mu 200 nga bakulembeddwa bannabyabufuzi baalumba ekibira kya Kumbu ne bakisaanyaawo naye baatemya ku poliisi n'ebakomako.
Nekesa agamba nti bali mu kuttunka n'abantu abaddukira mu kkooti nga bakaayanira ettaka ly’ebibira era emisango gikandaaliridde kati myaka 10.
Ssentebe wa NRM mu muluka gw'e Makonzi, Peter Kayemba yategeezezza nti, baasaba Gavumenti waakiri abavubi abaagobwa ku nnyanja bafunirwe aw'okubeera okubaziyiza okwesenza mu bibira naye tebannaddibwamu.
Minisita w’ebyettaka, Judith Nabakooba yategeezezza nti, kaweefube w’okuddamu okusazaamu ebyapa atandise naddala mu bibira bya
Bya DICKSON KULUMBA
OMUKULU w'ekika ky'Emmamba, Omutaka Gabunga James Mubiru Ziikwa V akunze abavubuka okwenyigira mu buweereza bw'ekika basobole okubangulwa mu bukulembeze.
Gabunga agamba nti, abavubuka bwe batandika obuweereza bw'ekika nga bakyali, bateekebwa ku nkiiko ezikola emirimu era kyangu n'obukulembeze obulala nga Mmengo okubalondobayo ne baweebwa obuweereza.
Yabadde ayogera eri bazzukulu be okuva mu Ssiga lya Kagenda e Luwunga- Mawokota abazze okukiika mu mbuga ye e Kabowa mu ggombolola y'e Lubaga mu nkola eyitibwa 'Olutikkulo lw'emmamba' ku Ssande. Mu nkola eno, abazzukulu okuyita mu masiga gaabwe mwe bayita okuwagira emirimu gy'enkulaakulana mu Kika kino.
Omutaka Kagenda Mulindwa Luyombo nga y'akulira essiga lya Kagenda yeebazizza Omutaka Gabunga olw'okutambuliza obukulembeze bwe ku nkulaakulana eruubirira okukyusa embeera ekika n'akunga abazzukulu okwettanira obumu n'okwetaba mu nteekateeka z'okukuuma obutaka ku mitendera gyonna. Kagenda yayanjulidde Gabunga olukiiko lw'essiga olupya nga lukulirwa Emmanuel Mulindwa nga Katikkiro, amyukibwa Musa Ssekubwa ne John Kiggwe, Daniel Kibudde ye mukubiriza ng'amyukibwa Majorine Nakkazi, omuwandiisi ye Paul Nantajja Lumanyika ng'amyukibwa Steven Ssengoba.
Abadde Katikkiro w'essiga okuva mu 1978, Scofield Ssekubwa kati muwabuzi era y'akulira olukiiko lw'abayima.
Paul Buwembo:
Tumanyi omugaso gw’ebibira kyokka kikwasa ensonyi abantu
okubisaanyaawo ate ne balimirayo enjaga. Abakikola bakwatibwe era bakangavvulwe.
Moses Tamale: Ebibira bituyamba ffenna. Ababyezza ne
beegabira n'ebyapa, babisazeemu ate
baweebwe
n'ebibonerezo ebikakali.
Yasin Seguya: Ndaba ng’awaliwo obulagajjavu ku ba NFA. Ogamba otya nti omuntu atwala n'ettaka okuli ofiisi w'otudde. N'abakulu banoonyerezebweko.
Kye bagamba
Gavumenti. Yanokoddeyo ebibira nga Jubiya, Mujuzi, Kasonke, Kijanibalora, Malamagambo ne Ntuusi ebisinze okukosebwa mu kitundu n'agamba nti bassaawo n’okunoonyereza ku ngeri ebyapa gye byafunibwamu n’okutuuka okusalamu poloti.
N'agamba nti, bannannyini byapa baakuyitibwa bawulirizibwe mu lukiiko olw’awamu, oluvannyuma baakusazaamu ebijingirire nga bwe kyakolebwa e Mpigi ne Mukono