Ebifaananyi

Baleese ekika ky’omuceere ekikula amangu

BANNAYUGANDA bakuutiddwa okwettanira enkola ez’omutindo okusobola okuvuganya n’emmere eggyibwa mu nsi ez’ebweru okusobola okwongera ku bungi bw’emmere eyeetaaga okuliisa abantu.

Omuceere omuddugavu ogulongooseddwa okuleetebwa ku katale.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BANNAYUGANDA bakuutiddwa okwettanira enkola ez’omutindo okusobola okuvuganya n’emmere eggyibwa mu nsi ez’ebweru okusobola okwongera ku bungi bw’emmere eyeetaaga okuliisa abantu.
Bannassaayansi abanoonyereza, ab’eby’amazzi, ebyuma ebikozesebwa mu kulima emmere n’okufuuyira nga baagala kutumbula ennima y’omuceere mu ggwanga mu ttabamiruka waabwe eyabadde ow’okukubaganya ebirowoozo ku byetaagisa okulima omuceere balaze nga bwe waliwo ebika by’omuceere bingi abantu bye bayinza okukima ne bafuna ssente mu bbanga ettono.

Peter Dhamuzungu, akwataganya pulogulaamu z’omuceere mu minisitule ey’ebyobulimi, ebyennyanja n’obulunzi yalaze nti, abalima omuceere basoomoozebwa olw’ebbula ly’ebyuma ebituufu ebikozesebwa mu kulima omuceere, okubulwa n’obutamanya ku nkola eziyambako mu kugufuuyira nga beeyambisa tekinologiya, ensigo ennungi n’ensonga endala.
Ayub Asingataba, nga mmemba wa Rice Millers Council yategeezezza nti, omwaka ogwa 2024, omuceere oguweza ttani akakadde kamu mu emitwalo 60 gwe gwaggyibwa e Tanzania ekikosa ennyo eggwanga.
Yalaze nti, olumu ebbula ly’omuceere libeera mu Uganda olulala mu Tanzania n’alaga nti, okusuubulagana mu mawanga agali mu East Africa kibayambako okuziba emiwaatwa egimu ng’egyo olwo emiwendo ne gitakyuka.
Yalaze nti, wakati wa April ne October buli mwaka omuceere oguviira Tanzania gubeera ku katale ate omuceere gwa Uganda gutera kubaawo mu bungi wakati wa July ne January buli mwaka naye era tegumala. Wakati wa February ne June buli mwaka omuceere gubeera mutono ku katale aka Uganda era ebbeeyi yaagwo etera okulinnya ekiwaliriza okufuna omuceere okuva e Kenya, nga kyetaagisa abalimi baagwo okubeera nagwo wakati wa February okutuusa June okusobola okuvuganya ne Tanzania ng’era omuceere ogusinga guva Mbale ne Soroti.
Dr. Jimmy Lamwo, omukugu mu kunoonyereza n’okumerusa ensigo z’ebimera ennongooseemu ku National Agricultural Reaserch Or18
Bukedde
Mmande June 29, 2026
Paul Lubega ku lwa JICA yalaze nti, balina kaweefube ow’okusomesa abalimi b’omuceere okulaba nga bagwagazisa abantu okugulima mu bungi awamu n’okukendeeza ku ssente gavumenti z’esaasaanya ng’egusuubula ebweru newankubadde ng’omuceere oguliwo ogumu omutindo gwa wansi olw’ebika ebitannalongoosebwamu.
Twagala abantu bongere okumanya bwe basobola okugulima mu bungi kubanga tubadde tusoomoozebwa ng’abagulima kye bandibadde baggyamu si kye bafuna olw’omutindo okubeera wansi, era twagala ku muceere omutono gwe balima bagufunemu kingi era essira tulitadde mu kunoonyereza.
Jun Hanaoka yalaze nti, baagala abantu okwettanira omuceere mu bungi era babayambako okusomesa abantu bwe basobola okulima omuceere nga bagufukirira okusobola okufuna omungi mu kiseera ekitono ddala kubanga y’emu ku ngeri gye bettanira okutaasa obutonde bw’ensiganisation (NARO) yalaze nti, bali ku kaweefue ow’okunoonyereza okufuna omuceere omulungi eri abantu nga nagwo kumpi bagulya ng’eddagala awatali kusooka kutunuulira kawoowo kagulimu.
Yalaze nti omuceere gwa bika bya njawulo okusinziira ku bitundu gye gulimibwa nga kati bali mu kugezesa ekika ekya Black rice ogusuubirwa okuyamba ku bantu abalina ebizibu mu lubuto n’okubeera nga gusobola okuterekebwa ekiseera ekiwanvuko nga tegwonoonese. Yayongeddeko nti, ekika kino era kyakuyamba nnyo n’abantu abatayagala nsusu zaabwe kukaddiwa.
Ambassada Idro Phillip, Ssentebe wa Rice Millers Council yalaze nti, baagala kuggyawo okusoomooza abalimi kwe basanga okukendeeza omuceere oguggyibwa ebweru

Tags: