Faaza Dr. James Kabuye abadde ayiiya ennyimba z’eddiini, eyafiira mu ddwaliro ly'e Nsambya ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde, y’aziikidwa mu kitiibwa mu limbo y’Abasaserdooti, eri mu mbuga za Lutikko y’e Kiyinda-Mityana, ku Lwomukaaga nga September 19, 2026. Fr. Kabuye y'afiiridde ku myaka 92, egy'obukulu. Obusaserdooti abumazeemu amyaka 64.
Okusabira omubiri gwa Faaza Dr Kakooza
Missa y’akulembeddwamu Omwepiskoopi w’essaza lya Kiyinda-Mityana, Polofeesa Joseph Antony Zziwa, eyasiimye ennyo Omusaserdoti we Faaza Kabuye olw’okukozesa obulungi ekitone kye eky’okuyimba, Katonda kyeyamuwa. Yategeezezza nti ennyimba omukulu ono zayayiiya, zirimu obubaka obulungi, obuyamba abantu okubeera obumu, okumanya Katonda, n’okumutendereza obulungi. Wano weyasabidde abawandiisi b’ennyimba abalala, abayimbi, n’abayimbisa, obuteetantala kukyusakyusa mu nnyimba za Faaza Kabuye ngabaziteekamu amaloboozi n’ebintu ebirala ye by’ataateekamu. Abo abawulira nga balina kyebaagala okukyusa, yabasabye bagende bayiiye ezaabwe,

Kkwaya ng'eyimba
Y’akyukidde bannabitone bonna, okuli abawandiisi n’abayimbi b’ennyimba z’ensi, abacanzi b’akapiira, n’abakugu mumirimo ej’enjawulo, nga abawanika emiti ne layini z’amasannyalaze, abasalamala, bamakanika, bakirimaanyi, ne bannalulungi, okukozesa obulungi ebitone, oba obukugu bwabwe okuweeereza abantu ba Katonda, sso ssi kubeesittaza, oba okubabonyaabonya. Yategeezezza nti ensangi zino waliwo obusiiwuufu bw’empisa bungi, n’asaba bonna abali mukisaawe ky’okuyimba okussa empisa mubitone byabwe, bw'atyo n'anenya abo abakozesa ebigambo nga tebabisabise.
Bannabyabufuzi n’abakulembeze b’abantu abalala nabo y’abasabye bakozese bulunngi obuyinza obw’abakwasibwa, ngaboleesa empisa mu buli kyebakola, era n’asaba w’ateekebwewo entereeza ey’okusomesa bannabyabufuzi empisa ennungi ez’obugunjufu.

Kkwaya ng'ekuba ebyuma
Y’asiimye Faaza Kabuye olw’okusomesa abayizi eby’okuyimba, n’okutendeka abayimbi n’asaba abavubuka abalina ekitone ky’okuwandiika ennyimba baveeyo bayiiyize Klezia ennyimba, wabula n’abasaba bulijjo babe beetegefu okuwabulwa, kubanga ennyimba ezo ziba zirina okukwatagana obulungi n’enjigiriza ya Klezia.
Omwepiskoopi w’e Masaka, Serverus Jjumba y’asabye Abakristu bakuume eggono Faaza Kabuye n’omugenzi Yozefu Kyagambiddwa lyebateeka mu nnyimba z’eddiini, lyeyagambye nti lijjawo lijjayo obulungi, obubalagavu, n’ekitibwa kya Katonda. Y’anenyezza Abakristu abamu abacamuka, nebazinira amazina amadngise mu mmisa, olumu nebatuuka n’okutuyana, ekintu ekisaabulula obukulu bw’ekitambiro, n’ekitiibwa kya Ddunda Namugereka.

Aba Sisita ng'abasabira omubiri gwa Faaza James Kabuye
Omwepiskoopi w’e Kasana-Luweero, Lawrence Mukasa y’agulumizza Katonda olw’okuwa Klezia ekirabo kya Faaza Kabuye, gweyagambye nti wadde ekitone kye eky’okuyimba kibadde kisukkulumye okutegeera kw’abantu, bulijjo abadde teyeegulumiza, nga mugonvu, muwulize, era nga mukkakkamu. Y’ategeezezza nti mubulamu bwe. Faaza Kabuye y’agatta Abakristu ba Provinsi ya Klezia ey’e Kampala, egatta amasaza ag’oogera Oluganda, (okuli Kasana-Luweero, Lugazi, Kiyinda-Mityana, Kampala ne Masaka), kuba gonna y’agakoleramukko, ate nga nemukufa, y’azzeemu okubagatta kuba abakungubazi abazze okumusiibula baavuddde mumasaza gano gonna.
Ssentebe w’olukiiko oluvunaanyizibwa kuby’entereeza mu Provinsi ya Klezia ey’e Kampala ey’akalondebwa, Fr. Charles Kabanda y’asabye Abepiskoopi bayambeko, ennyimba za Faaza Kabuye zonna eziri mukitabo kya "Mujje Tutendereze Omukama,” ziddemu okufulumizibwa buto, ngaziwandiikiddwa mu nnota.

Abakungubagzi nga bali mu kusabira omubier gwa Faaza James Kabuye
Ssabasumba Paulo Ssemogerere ow’essaza ekkulu ery’e Kampala, n’Omwepiskoopi Christopher Kakooza ow’e Lugazi nabo baaweerezza obubaka obusiima Faaza Kabuye.
Klezia y’awadde Faaza Kabuye ekitiibwa eky’enjawulo, bweyaziikiddwa ng’ayambadde enkufiira ya ‘Biretta.’ Ennyimba zonna ezaayimbiddwa mu mmisa ey'okumusiibula, zaabadde zize, sso ate era, okuva omubiri gwe wegwaleeteddwa mu Lutikko, ku Lwokubiri akawungeezi, w’abaddewo kkwaya ezenjawulo, ezaavudde mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu, obwedda eziyimba ennyimba ze.
Polofeesa Zziwa Ayanukudde Ababadde Basalaganya Ebigambo
Wabaddewo abantu bamu ababadde bakolokota abakulu abakulembera essaza lya Kiyinda-Mityana ngabagamba nti okuteeka Faaza Kabuye mu ttenndekero ly'Abasomesa ba Katekisimu e Kiynda-Mityana, gy'abadde aweerereza nga omumyuka wa Dairekita okutuusa lw'afudde, ky'ali kikolwa eky'oleka obutasima mirimo gy'eyakolera Klezia, ate ggwe wamma n'okumuyisaamu amaaso.

Dr Faaza Kabuye nga bweya afaanana
Wabula bweyabadde awa obubaka bwe obusembayo, Omwepiskoopi Zziwa endowooza efaananako bw'etyi y'ajisambazze. Y'ategeezezza nti kiri munkola ya ssaza, Abasaserdoti bonna ababa banafuye mumbeera zaabwe ez'obulamu, okuweebwa enkizo okwesalirawo wa gyebaagala okubeera, era nga ne Dokita Kabuye omukisa guno y'agufuna, ye yennyini n'asaba okuteekebwa mu ttendekero ly'Abasomesa ba Katekisimu e Kiyinda-Mityana, era nga okuslawo okwo abadde takukyusanga.