ABABAKA ba Palamenti abava mu disitulikiti y'e Rakai ba-coomedde abakulu mu disi-tulikiti eno olw'embeera embi ey'amakubo gaabwe wadde Gavumenti eweereza ensimbi mpitirivu okugaddaabiriza.
Bano abaabadde abakaawu okukira omususa, baakulem-beddwa akulira akakiiko k'ebyenguudo era omubaka omukyala owa disitulikiti eno, Juliet Ssuubi Kinyamatama, ow'essaza ly'e Kooki, Didas Kabumbuuza n'omubaka wa Buyamba, Ssemwanga Gyaviira Kisoboka.
Baabadde mu kaweefube gwe baliko ow'okulondoola obu-kadde 250 obwasindikibwa ku buli disitulikiti okuddaabiriza enguudo. Bano baalambudde en-guudo okuli Kageye - Kibindi -Kakumbiro mu Kibaale TownCouncil, Byakabanda - Babbun-ga - Kifamba kwossa Kamukalo-Lwenkakala- Lukundo neKasenyi nga zonna zaasangid-dwa mu mbeera mbi. Omubaka w'e Buyamba, Ssem-wanga Gyaviira yagambye nti kibakakatako okulondoola en-simbi y'omuwi w'omusolo.
Yay-ongeddeko nti, baakizudde nti abamu ku baweebwa okukola enguudo bamala geekolera omu-li obutalekaawo kkubo amazzi we gayita ekiviirako enguudo zino okufa amangu.
N'agamba nti, bakozesa n'ebigoma ebitali bya mutindo. Omubaka Kinyamatama yagu-mizza banna Rakai nti, baak-wongera okutuusa obuweereza obulungi okulaba ng'ekitundu kikulaakulana.
Ate Henry Wangi Ssebugenyi, yinginiya wa disitulikiti yategee-zezza abakulu nti, enguudo e Rakai zeetaaga kuyiibwa kkoo-laasi kubanga ettaka lyabwe malamu tasobola kukwatako. Bakansala okuli; Jonex Musanje owa Kibaale Town Council, Katamba Ali Wasswa n'abalala baategeezezza nti, abantu baabwe basoomooze-bwa olw'embeera y'amakubo ng'emirundi mingi balemererwa n'okutambuza ebyamaguzi byabwe ate nga mwe baggya ekyokulya.