Ebifaananyi

NakasAmasomero amanene gasattira lwa kubbira abayizi ebigezo

EKITONGOLE ky’ebigezo mu ggwanga, kitadde akazito ku masomero amanene agabadde gamanyiddwa ennyo mu kuyisiza abayizi waggulu kyokka nga bayita mu kakodyo ak’okubbira.

Abasomesa abaakwatibwa nga bali mu kaguli.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EKITONGOLE ky’ebigezo mu ggwanga, kitadde akazito ku masomero amanene agabadde gamanyiddwa ennyo mu kuyisiza abayizi waggulu kyokka nga bayita mu kakodyo ak’okubbira.
Kiddiridde abamu ku basomesa b’amasomero gano okusangibwa lubona nga babbira abayizi ebigezo era ne batwalibwa mu kkooti beewozeeko. Omwogezi wa UNEB, Jennifer Kalule, yategeezezza Bukedde nti, ku mulundi guno, baatadde essira ku gamu ku masomero gano okukkakkana nga bakutte abamu ku basomesa ‘n’obusasi’.

Ku bano kuliko Kasango ku ssomero lya Desire Primary School mu Mayuge, Paul Enyeni, 44; James Etok, 57 ne Godfrey Semalulu, 40, okuva ku Hormisdallen e Kamwokya.
Abalala ye; Raphael Wandera, 29, ku ssomero lya Mustard Seed School e Lwengo, Gloria Acio, 34, ne Judith Nantongo, 51, abasomesa ku ssomero lya Daffodils P/S, Lydia Mirembe, 38, okuva ku Tawhid P/S mu Kisenyi.
Emmanuel Waibi, 31, owa Nakyenyi School, Lwengo, Ivan Nduhukire, 36, owa Raise and Shine P/S erisangibwa mu Nakaseke ne Emmanuel Waibi omusomesa ku Nakyenyi SS e Lwengo nabo baasimbiddwa mu maaso g’Omulamuzi wa kkooti ya City Hall mu Kampala, Nicholas Aisu, nga November 6 ne beewozaako ku misango egyabagguddwaako oluvannyuma ne basindikibwa ku alimanda e Luzira.
Martin Kasagga ne Junior Ssekikubo aba Natrunda Ronasi, Aloysius Katete, owa Hillmark Junior School, Abasi Dominic, owa Mirembe Infant School, Mwebe Victor owa Nabbale P/S, John Ekisa okuva ku Bright P/S, Samuel Ssekalongo ne Samuel Mutatina, nabo bawerennemba na misango 5 nga gya kubbira bayizi bigezo.
Mu musango ogusooka kigambibwa nt, nga November 3, 2026 Bumali Kasango yayuza ebaasa omwali ebigezo by'ekibiina kya P7 mu kiseera ekitali kituufu, ate mu musango ogw'okubiri, kigambibwa nti, nga November 4, Paul Enyeni, James Etok, Geoffrey Semalulu, Raphael Wandera ku ssomero lya Hormisdallen Primary School baasangibwa n'ekigezo eky'okubala.
Omusango ogwokusatu ogwabagguddwaako gulaga nti, Gloria Acio, Judith Nantongo nga November 3, 2026 ku ssomero lya Hormisdallen babbira abayizi ekigezo ky'Okubala (Mathematics), ate Lydia Mirembe yasangibwa w’atakkirizibwa mu ssomero lya Hormisdallen mu budde ng’abayizi bakola ebigezo byabwe.
Kkooti era yavunaanye Emmanuel Waibi, eyakulembera abalondoola ebigezo ku ssomero lya Mastered Seed P/S e Lwengo, ng’ali ne Ivan Nduhukyire, agambibwa okusangibwa ‘n'akasasi’ kyokka n’atakozesa buyinza bwe kukikomya.
Omuwaabi wa Gavumenti, Benjamin Amannya yategeezezza kkooti nti okunoonyereza mu musango guno kukyagenda mu maaso n’asaba olunaku olulala lwe banaakomezebwawo mu kkooti.
Omulamuzi omusango yagwongezzaayo okutuusa nga November 19, 2026. Okusinziira ku UNEB, abayizi 77,000 ku abo 817,883, abaatuula ebigezo bya PLE, mu mwaka gwa 2025, ebyava mu bigezo byabwe byasazibwamu ku bigambibwa nti, amasomero gaabwe geenyigira mu kubabbira ebibuuzo.

Tags: