EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku mutindo gw'eddagala mu ggwanga kikoze ekikwekweto mu bitundu by’e Busoga ne kiggala ebifo omutundirwa eddagala ebitali mu mateeka 109.
Mu kikwekweto kino bookisi z’eddagala ezisoba mu 200 nga zibalirwamu obukadde 65 zaaboyeddwa. Ekikwekweto ky’okuggala ebifo ebikyamu ebitunda eddagala kyakoleddwa aba National Drug Authority (NDA) wiiki ewedde.
Omwogezi wa NDA, Abiaz Rwamwiri yabuulidde Bukedde nti ekikwekweto kino kyakoleddwa okumala wiiki nnamba mu Iganga, Kamuli, Luuka, Bugiri, Jinja ne Jinja City.
Rwamwiri yagambye nti nga abakola ebikwekweto bino baakizudde nti abantu bangi badduka mu bibuga ne beekweka mu byalo okutundirayo eddagala nga bakimanyi bulungi nti tebalina bisaanyizo, era nti baakwongera okubayigga.
"Amaduuka agawera gaasangiddwa macaafu nga tegasaana kutundirwamu ddagala nga n’abakolamu tebalina bukugu oluusi ekiviirako abantu okufuna obulabe olw’eddagala lye baguze okubajjanjaba," Rwamwiri bwe yagambye.
Yasabye abantu okugulanga eddagala mu maduuka ne ku bantu abalina ebisaanyizo okwewala ebizibu