Omutendesi wa ttiimu y'eggwanga eya Volleyball ayungudde abazannyi 18

MANGU ddala nga yaakamala okuweebwa omulimu gw’okutendeka  ttiimu y’eggwanga eya ‘Volleyball’ abasajja ( Volleyball Cranes), Shilla Omuriwe Buyondo ayise ttiimu ya bazannyi 18 okutandika okutendekebwa nga beetegekera ez’Afrika.

Omutendesi wa ttiimu y'eggwanga eya Volleyball ayungudde abazannyi 18
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Volleyball

Bya GERALD KIKULWE

MANGU ddala nga yaakamala okuweebwa omulimu gw’okutendeka  ttiimu y’eggwanga eya ‘Volleyball’ abasajja ( Volleyball Cranes), Shilla Omuriwe Buyondo ayise ttiimu ya bazannyi 18 okutandika okutendekebwa nga beetegekera ez’Afrika.

Eggulo Lwakusatu (July 21, 2021) Omuriwe nga ye mukyala asoose mu byafaayo by’omuzannyo gwa Volleyball wano mu ggwanga okutendeka ttiimu y’eggwanga ey’abasajja, yalangiriddwa mu butongole ekibiina kya ‘Uganda Volleyball Federation(UVF).

Ono alonze George Aporu omuzannyi wa Nemostars mu liigi ya babinywera ku bwa kapiteeni bw’eyeggwanga, waakumyukibwa Daudi Okello azannya 'ppulo' mu Hyundai Skywalkers eya Korea.

“Twagala kuyingira nkambi nga bukyali olw’okwetangira n’okukendeeza ku katyabaga k’ekirwadde kya Corona ekitabuse mu ggwanga, era nzikiriza mu wiiki emu okuva kati tujja kuba tufunye wooteeri gye tugenda okusiisira,” Omuriwe bwe yakakasizza.

‘Volleyball Cranes’ yeetegekerae mpaka z’ekikopo ky’Afrika (Africa Nations Volleyball Championship) ez’okuzannyibwa wakati wa August 19 ne September 19 mu ggwanga eritanakakasibwa wakati wa Rwanda ne Tunisia.

Empaka zino era zigenda kukola ng’ezokusunsulamu abaneetaba mu ‘World Cup’ wa Volleyball omwaka ogujja.

Ttiimu eyayitiddwa

Moses Odeke, Emma Elanyu, Bernard Malinga, George Aporu, Smith Okumu ne Jonathan Tumukunde(aba Nemostars), Brian Atuhaire, Dickens Otim, Johnson Rukundo ne Marino Oboke(aba Sport’S), Allan Ejiet Olokotum(KAVC), Sam Egwau(VVC), Sharif Nabanji (OBB), Nathan Okare Edulu ((OBB), Emmanuel Okia (Ndejje), Daudi Okello(Korea), Ivan Ongom(OBB), Gideon Angiro(KCCA).

Abakungu

Shhila Omuriwe Buyondo (Mutendesi), Luke Einstein Eittit (mumyuka), Nason Bwesigye (byakikugu), Ahmed Kigundu(Maneja) ne Chris Womukota(Muwandiisi).