Empaka za Elite schools zigguddwawo, abanene bavuya, Kitende Buddo ekubye Janan 103-3 mu kubaka.
Egyazanyiddwa mu mupiira
Buddo 1-0 Kyaddondo SS
Kitende 5-1 fortportal
Bukedea 2-2 mentor
Standard 0-2 BuddoMartyrs 2-1 KitendeMentor 3-0 JananKawempe 0-1 BukedeaMu bawala
St Noa 1-1 Standard High
Kawempe 4-0 Nkoma SS
Martyrs 1-0 Bukedea
Mu kubaka
Buddo 103-3 Janan
Kitende 59-25 Namagabi
St. Marys Kitende yayaniriziddwa mu bukamwe mu mpaka z'amassomero eza Elite bweyakubiddwa Uganda martyrs goolo 2-1 mu mupiira gwabwe ogw'okubiri ogwazanyiddwa akawungezi keggulo.
Kitende ebadde emaze emyaka esatu nga tekiika mu mpaka zino yaguddewo ne Fortportal SS gyeyatimpudde goolo 5-1 mu kibinja ekyokubiri.
Mu kibinja ekisooka Buddo yakubye Kyaddondo goolo 1-0 mu gwaguddewo ate ogwokubiri nekuba standard High zana 2-0 nekulembera ekibinja nobubonero 6.
Mu kibinja ekyokusatu Bukedea yagudde maliri ne mentor 2-2 mu gwasoseewo ate ogwazeewo akawungezi nekuba kawempe muslim 1-0.

Bombo Army nga ettunka ne Gombe SS mu handball owabawala
Olwaleero enzannya eza quarter final lwezitandika nga zaakusirisizaawo.
Mu mupiira ogwabawala kawempe muslim yakubye Nkoma SS eye mbale goolo 4-0 ate uganda martyrs Rubaga nekuba Bukedea 1-0. Bannantameggwa bomwaka oguwedde mu mupiira ogwabawala aba St Noa girls bagudde maliri aga goolo 1-1 ne standard high Zana.
Mu kubaka Bannantameggwa bomwaka oguwedde aba Buddo batimpudde abategesi aba Janan goolo 103-3 mu muzannyo ogukyasinzeemu goolo enyingi mu byafaayo byempaka zino.
Yo st marys kitende yakubye Namagabi goolo 59-25.

Omuzanyi wa Amus College (mu byeru) nga attunka nabazibizi ba Seroma mu nsero
Mu volleyball owabalenzi Bukedea yawangudde 2-0 nga ekuba abategesi aba Janan ne standard high zana. Seroma nayo yawangudde emizannyo gyayo gyonna bweyakubye standard high zana ne Mbarara High obugoba 2-1.
Mu Nsero eya 5x5 mu balenzi seeta High school yakubye Janan 38-29 ate omuzannyo ogwokubiri nekubwa Buddo ensero 66-51.
Mu mirala Seroma yakubye Mengo SS 60-53 ate omuzanyo ogwokubiri Amus college negikuba ensero 47-29.
Mu handball Gombe SS yeerisizza nkuuli bweyakubye Bombo Army 46-12 neddamu nekuba Mary Hill 35-12. Mu bawala Gombe yakubye Bombo Army 39-19 ate Kawanda SS nekuba Bombo Army 30-29