SC Villa epepereza muzibizi wa Vipers

Aug 09, 2021

EMBIRANYI wakati wa SC Villa ne Vipers FC yaakweyongera oluvannyuma lwa Villa okwogereza omuzibizi Aziz Kayondo. 

NewVision Reporter
@NewVision

Kino kiddiridde ssentebe wa SC Villa Shawn Mubiru okuwandiikira Vipers ebbaluwa ebagazisa okukansa omuzibizi waabwe Kayondo. 

Kinajjukirwa nti endagaano ya Kayondo ne Vipers abaakawangula liigi emirundi ena (4) esigazza omwaka gumu okuggwako. Bino olwagudde mu matu ga Villa ne bassaayo akabega. 

SC Villa eyagala Kayondo adde mu nnamba ssatu eya Derrick Ndahiro eyagenze mu URA era akatale g’abazannyi tekabasaze kuba baakansizza omuzibizi wa BUL FC Kenneth Ssemakula ne Ismail Mugulusi okuva mu Busoga United. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});