Kitende ne Buddo ziteebye lukunkumuli
May 08, 2025
MARY'S SS Kitende, eririna likodi y'okuwangula empaka z'eggwanga ez'omupiiragw'amasomero ga Siniya, kye lyakoze Bugisu High ery'e Mbale eggulo, enkoko ekikolabaana baayo.

NewVision Reporter
@NewVision
Kitende 4-0 Bugisu High
Lubaga 5-0 Devine College
Bukedea 2-0 St. Balikuddembe
Buziga Islamic 1-0 Masindi SS
Greelight Islamic 1-0 Quality High
St. Julian 2-1 Labira Girls SS
Mt. Zion High 2-0 Lubiri SS
Panyandoli 0-0 St. Kagwa
St. Kagwa 1-0 Lira Town College
Bugisu High 2-1 Notre Dame
Busia SS 3-0 Chemwania High
Masaka SS 1-1 Fort Portal SS
Kyadondo 2-0 Mehta High
MUMSA 2-1 Wisdom High
Kichwamba 2-0 Highway Kiganda
Buddo SS 13-1 Chemwania High
Kimaanya 8-0 Mwoyo Star High
Mu mupiira gw'abawala;
Kawempe 10-0 Katikamu SDA
Latifah Mixed 5-1 Kinoni High
London College 0-0 Kongole Girls
JIPRA 2-0 Aidan College
Maryhill High 0-0 Fairway High
Kisozi Seed 1-1 Bugisu High
Bunya SS 1-1 Lugazi Homestone
Rines SS 2-1 Jinja SS
Sheema Girls 3-0 Kapchorwa
Boni Girls 11-0 Newton SS
Francis Ayume 3-1 Kamonkoli SS
Kibingo Girls 8-1 Koro SS
St. Cha. Lwanga 3-1 Kangulumira
Sacred Hearts 3-2 MM College
Lamennais College 1-1 Highway
Bukedea 1-0 Gulu HighST.
MARY'S SS Kitende, eririna likodi y'okuwangula empaka z'eggwanga ez'omupiira
gw'amasomero ga Siniya, kye lyakoze Bugisu High ery'e Mbale eggulo, enkoko ekikola
baana baayo.
Yalitimpudde ggoolo 4-0 n'eyongera okukakasa abalisongamu olunwe lw'okwetikka ekikopo. Empaka zino ezitegekebwa ekibiina ekigatta emizannyo mu masomero
gonna (Uganda Secondary Schools Sports Association, USSSA), zaatandise ku Lwakubiri ku Ngora High School mu Teso ziggwe ku Lwokusatu lwa wiiki ejja.
Kitende, eyaakawangula empaka zino emirundi 11, ye tiimu eyasoose okuwangulira
ku ggoolo 4 kyokka oluvannyuma Lubaga yagisinzeeko bwe yatimpudde Devine College (5-0) ate nayo Buddo n'egiyisa bwe yasinsimudde Chemwani High ery'e Sebei (13-1).
Buddo ye yawangula empaka zino mu 2018 bwe yakuba Blessed Sacrament Kimanya
(1-0) mu zaali e Mbarara. Mu mpaka z'omupiira ogw'ebigere ogw'abawala eziyindira ku Bukedea Comprehensive era mu Teso, Kawempe Muslim, Kibingo Girls ery'e Sheema, ne Boni Consilii Girls ery'e Isingiro gaanaazizza gannaago ggoolo
No Comment