Ttiimu y'eggwanga ey'ensambaggere eyigga nsimbi zigitwala mu z'ensi yonna

Sep 06, 2021

TTIIMU y’eggwanga ey’ensambaggere eri ku muyigo gwa nsimbi obukadde 55 ezinaagisobozesa okwetaba mu mpaka z’ensi yonna eza ‘World kickboxing Championships.

NewVision Reporter
@NewVision

Empaka zino zaakuyindira mu kibuga Cairo ekya Misiri wakati wa October 18 ne 24.

Patrick Luyooza omu ku baali ku kakiiko ak’ekiseera akakulembera omuzannyo guno mu kiseera kino agambye bawandikidde NCS akakiiko akatwala emizannyo mu ggwanga okubakwasizaako kyokka tekannabaddamu.

Agamba beetaaga ensimbi obukadde 65 okutwala ttiimu y’abazannyi 5, abatendesi babiri n’abakungu basatu ezikyabeekubye empi n'asaba abazirakisa okubadduukirira.

Kiraabu okuli Pentagon ey'e Natete, Hard Body, Ndejje Hera, Ntinda n’endala ze zisuubirwa okuvaamu abazannyi abanaakiikirira Uganda mu mpaka zino.

Ab’ensambaggere era baali mu kwetegekera kulonda ng’okuvugannya kusuubirwa kuba wakati wa Luyooza ne Malik Kaliisa abazze balwanira obukulembeze kuva 2019.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});