Bya Moses Kigongo
NGA Uganda yeetegekera okujaguza Ameefuga ag'emyaka 59 nga 9 October,MOSES KIGONGO akuleetedde abamu ku Bannabyamizannyo abeetongodde mu mizannyo nga bayita mu kwetandikirawo pulojekiti z'emizannyo ezirina kye zigatta ku ggwanga.

Mwe 8(2)
Omusasi wa Bukedde Online Moses Kigongo yamuguddeko ku Lwokubiri emisana era emboozi ye yaginyumiza bwati;
EBIMUWALIRIZA OKUSIIBA KU SSOMERO;
Omuggalo kye kimu ku bintu ebisinze okumpaliriza okusiiba ku ssomero lyange kubanga sikyalina bintu biralala byenkola olw'omuggalo gwe tuliko n'okweewala okusasanya ekirwadde kya COVID-19.

Mwe 9
Okwaagala okuyoyota n'okutegekera abayizi bange ekifo kino bakisange nga kiri mumbeera nnungi we banakomerawo. Era kino kye kinkozesa emirimu egyenjawulo omuli; okukuba bulooka, okusimba enva endiirwa mu lugya lw'essomero n'okukima amazzi geneeyambisa okufukirira ebirime byange bye banalya nga bakomyeewo .
Nina n'okusoomozebwa kw'ensimbi kubanga essomero terikyayingiza ssente oluvanyuma lwa gavumenti okusindika abayizi baffe ewaka.Era kino olusi kye kimpaliriza okweekwatira mu mirimu egimu gye nandibadde nsasanyizaako ssente ku bakozi b'essomero lino.
Ensonga ezaamusikiriza okutandikawo pulejokiti y'essomero ne akademi;
Nazaaalibwa mu family y'abazadde abayivu kubanga kitange Vicent Muyego ye yali akulira eby'emizannyo mu balakisi ye Jinja(nga tanawumula magye),ate maama Racheal Catherine Namuwaya yali musawo(Nurse).Era twaakula batukubiriza okusoma nga bagamba nti ly'elimu ku makubo agagenda okutuyamba okubeera obulungi mu bulamu bwaffe obw'omumaaso.

Mwe 10
-Okuzimba ekifo awanatekerwateekerwa abavubuka ne bamusaayimuto b'eggwanga lyaffe mu bitone ebyenjawulo okuli; eby'emizannyo n'ebiralala ng'okuyimba,okuzina n'okukola emirimu egy'omu mutwe eginabayamba okwebeezawo mubiseera byabwe eby'omu maaso.
OBUBAKA ERI BANABYAMIZANNYO;
Banabyamizannyo balina okukola ennyo n'okubeera n'empisa okusobola okuwangaalira mu bulamu obupya obuli ebweru w'ekisaawe.
Ekiralala bateekewo ebintu ebinawangaala (investments) kubanga ekiseera kigenda kutuuka obulamu bw'okuzannya emizannyo bugweeko nga betaaga ebintu ebyo okusobola okweyimirizaawo mu bulamu obw'omu maaso.

Mwe 13
MWESIGWA YANI?
Yazaalibwa Vicent Muyego ne Racheal Namuwaya nga 24th April 1984 e Jinja.
Okusoma yakutandikira mu Victoria Nile(gye yasomera Nursery,ate P.7 nagisomera ku ku St.Gonzaga e Jinja.
S.4 nagituulira ku Light Arcademy e Bulenga ,ate S.6 nagimalira ku St.Joseph e Nagalama. Oluvanyuma yakola dipuloma mu by'okuddukanya bizinensi (Business Adminstration and Management) ku Bathel Training Institute e Jinja.
Omupiira yagutandikira Jinja mu akademi ya Aldinane ne Randon.Oluvanyuma neyeegatta ku Busia United mu 1999 gye yava okweegatta ku Nile FC mu 2000.
Yagenda mu Mbale Hereos mu 2001 paka mu 2002,olwo neyeegatta ku SC. Villa mu 2003 okutuusa mu 2006 lwe yatandika okuzannya omupiira gw'ensimbi mu IBV okutuusa mu 2009.

Sig 1
Yeeyongerayo mu China gye yeegatira ku Chonquin mu 2010 gye yava okudda mu Ordabasey FC (eye Karzarkstan) okutuusa mu 2014. Oluvanyuma yagenda e Cyprus gye yeegatira ku Yenica mu 2015 , gye yava okuddayo eChina mu Sygon mu 2016 okutuusa mu 2017 lwe yanyuka omupiira.
Cranes agizanyidde emyakka 12 (okuva mu 2003 okutuusa mu 2017) lwe yanyuse omupiira gwa ttiimu y'eggwanga.