Nga bukya ku Mmande ssaawa 9:30, (September 27, 2021) ttiimu y’abazannyi 20 n’abakungu musanvu baasitudde okugenda mu mpaka za ‘COSAFA Women’s Championship’ ezitandika enkya Lwokubiri (September 28 – 9th October, 2021).
Abaasuliddwa kuliko; Gloria Namakula, Rhoda Nanziri, Resty Kobusobozi ne Anita Namata wabula omutendesi era yafunyeemu ekyekango olwa bappulo okuli; Yudaya Nakayenze(USA) ne Shiraz Natasha (Israel) abaalemereddwa okwegatta ku ttiimu olw’empapula z’entambula zaabwe okukerewa.
“Tugenze ne ttiimu ebadde mu nkambi ku ‘FUFA Technical Center’ e Njeru era tulonzeemu abo ababadde n’omutindo omulungi, tukkiriza tugenda kuteekawo okuvuganya okw’amaanyi,” Lutalo bwe yategeezezza.
Uganda eggulawo n’eggwanga lya Eswatini ku Lwokuna (September 30, 2021) mu nzannya z’ekibinja C omuli; Zambia, Eswatini ne Namibia.
Uganda yakoma okwetaba mu mpaka zino mu 2018 bwe yamalira mu kifo ekyokusatu.
Crested Cranes 1
Ekibinja ekigenze
Mu ggoolo: Ruth Aturo (UCU Lady Cardinals FC), Daisy Nakaziro (Lady Doves FC)
Abazibizi: Viola Namuddu (Makerere University WFC), Shadia Nankya (UCU Lady Cardinals FC), Eunice Ariokot (Olila High School WFC), Bridget Nabisaalu (She Corporate FC), Phoebe Banura (UCU Lady Cardinals FC), Asia Nakibuuka (Kawempe Muslim Ladies FC)
Abawuwuttanyi: Joan Nabirye(Vihiga Queens FC), Reticia Nabbosa (Lady Doves FC), Sheebah Zalwango (Asubo Gafford Ladies FC), Phiona Nabbumba (She Corporate FC), Spencer Nakacwa (Lady Doves FC), Amina Nababi (Makerere University WFC),
Abateebi: Hasifa Nassuna (UCU Lady Cardinals FC), Sharon Naddunga (Kawempe Muslim Ladies FC), Resty Nanziri (Kampala Queens FC), Sandra Nabweteme (Fimleikafélag Hafnarfjarðar, Iceland), Laki Otandeka Kanyesigye (New Jersey Copa FC, USA), Norah Alupo (Lady Doves FC).
Abakungu: Hon. Florence Nakiwala Kiyingi(akulembeddemu ekibinja), George Lutalo (Mutendesi), Edward Kaziba(Mumyuka), James Magala(Wa baggoolokippa), Meble Katabalindwa(Musawo), Prossy Nalwadda(Maneja) ne Faridah Tomusange Nassejje (Mawulire).