Leero mu Champions League: ManU ekyazizza Villarreal gy’etakubangako!

Sep 29, 2021

Leero ku ssaawa 4:00 ez’ekiro Kiraabu ya ManU ey’e Bungereza egenda kuzannya Villarreal ey’e Spain gy’etakubangako bukyanga batandika okusisinkana ng’egikyazizza mu maka gaayo aga Old Traford ekisangibwa mu kibuga Manchester e Bungereza

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Wilson W. Ssemmanda

Leero ku ssaawa 4:00 ez’ekiro Kiraabu ya ManU ey’e Bungereza egenda kuzannya Villarreal ey’e Spain gy’etakubangako bukyanga batandika okusisinkana ng’egikyazizza mu maka gaayo aga Old Traford ekisangibwa mu kibuga Manchester e Bungereza.

Ebyafaayo wakati wa ttiimu zombi:

Guno gugenda kubeera mupiira gwa 6 nga ttiimu zino zombi zikwatagana mu bikopo bya Bulaaya, emirundi 5 egisembyeyo ttiimu zino zibaddenga zigwa maliri mu ddakiika 90, era nga ku gyo, eno gibaddenga giggwa 0-0 okuggyako Fayinolo ya Europa League ey’omwaka oguwedde lwe gwaggwa 1-1 ne bagenda mu peneti Villarreal mwe yawangulira ManU ku ggoolo 11 ku 10.

Mu Champions League ttiimu zino zaakasisinkana emirundi 4 era gyonna gibaddenga gya maliri aga 0-0.

Mu birala:

ManU yaakamala emipiira 7 egisembye ng’ezannya ttiimu z’e Spain nga tewanguddeeyo n’ogumu okuva lwe yawangula ttiimu ya Real Sociedad de Fútbol mu sizoni ya 2013 -2014 ku ggoolo 1-0.

Ate Villarreal yaakamala emipiira 16 mu Champions League ne Europa League nga tekubiddwamu nga bawanguddeko emipiira 12, ate 4 ne bakola amaliri.

Jjukira nti ManU yakubwa omupiira gwayo ogw’omu kibinja ogwasooka bwe yali ekyalide ttiimu ya Young Boys nga ssinga leero bagikuba gwe gunaaba omulungi gwayo ogusoose okugikuba emipiira 2 mu kibinja ekitabangawo mu byafaayo by’ekikopo kino.

Christiano Ronaldo: Ssinga Ronaldo azannya omupiira gwa leero agenda kuba ataddewo ekyafaayo eky’omuzannyi akyasinze okuzannya emipiira gya Champions League emingi anti ajja kuba awezezza emipiira 178 ng’amenyawo likodi  ya Iker casillas eyali kkipa wa Real Madrid eyawummula ng’azannye emipiira gy’ekikopo kino 177.  

Jjukira nti yakoma okuzannyira ManU mu kikopo kino mu 2009 bwe baali bakuba Arsenal ku ggoolo 1-0 era nga mu mipiira 15 gye yakubira ManU mu kikopo kino yateeba ggoolo 7 n’ateekawo ennyamba 5.

Abatagenda kuguzannya:

Mu ManU abazannyi abakakasiddwa obuteetaba mu mupiira guno mulimu; Harry Maguire, Amad Diallo, Marcus Rashford nga bonna bakali ku buvune, Aaron Wan-Bissaka ali ku kkoligo erya kkaadi emmyufu gye yafuna mu mupiira ogwasooka ogwa Young Boys.

Ku Villarreal abataguliimu kuliko: Omuteebi Gerard Moreno taguliimu, ne Francis Joseph Coquelin ataguliimu olw’ekkoligo lya kkaadi.

Abatendesi: Ole ne Unai Emery emirundi 7, nga Solskjaer awanguddeko 2, Emery 3 ne bagwa amaliri emirundi 2. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});