Lwakuna mu gya World Cup;
Rwanda-Uganda e Kigali
URA FC 0-2 Uganda
Micho ali kumuyiggo gwakusikiza Jjuuko oluvannyuma lw’okuyita abazibizi abawera nga beetegekera ensiike ya Rwanda e Kigali okulaba nga baziba eddibu eryo.
Uganda bwe yali eggulawo kampeyini eno, Jjuuko ekisenga yakikuba ne Khalid Lwalilwa eyafuna obuvune n’asikirwa Enock Walusimbi era okuva ku mupiira gwa Kenya, Juuka abadde azannya ne Walusimbi wabula ku mulundi guno Micho anoonya musika we.
Cranes111
Abamu ku bazibizi Micho be yagasse ku ttiimu kuliko; Najib Fesali, Geofrey Wasswa, Livingston Mulondo, Paul Willa ne Innocent Wafula nga ku bazannyi bano alina kulondako omu okulaba nga yeegatta ku Walusimbi mu kisenge.
Eggulo, Uganda yazannye omupiira gw’okwegezaamu nga battunka ne URA FC gye yamezze ggoolo 2-0 e Kitende.
Mu mupiira guno Micho yakakasiza nga ttiimu ye bwe yagumidde oluvannyuma lw’okwolesa omutindo ogw’enjawulo. Ku Lwokuna, Uganda yamegga KCCA 2-1 e Lugogo.